Abatuuze mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso basigazza ssaawa mbale okusalawo ani agwanidde okuba meeya w’ekitundu kyabwe.
Okulonda okubadde mu ggwanga, bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) bakoze bulungi nnyo kyokka olunnaku olw’enkya, waliwo okutya oba abatuuze b’e Kyengera bayinza kwesiga omuyimbi Mathias Walukagga.

Walukagga abadde musaale mu kuyimba ku bigenda mu maaso mu ggwanga n’okulaga ebikyamu ebiri mu ggwanga ate okufuna kaadi ya NUP, kimwongedde ettutumu mu bantu wabula okuwangula alina okumegga abantu abasukka mu 10.

Wadde Walukagga alina amaanyi mu bantu, okuwangula tukuletedde abantu abeesowoddewo okulemesa obukulembeze.

1 – Experito Gganaggwa, ssentebe wa Kyengera Wakimese
2 – Munna NRM, Geoffrey Ssebaggala
3 – Munna DP Ssaalongo David Muweera
4 – Munna NUP Mathias Walukagga
5 – Robert Luswata
6 – Ibrahim Kiggundu
7 – Diriisa Kyambadde
8 – Adrian Ssekyanzi
9 – Peter Balikuddembe Jjumba, abadde kansala wa LCV ow’omuluka gwe Kyengera.
10 – Lule Kiwanuka Bonny
11 – Nabil Bunya
12 – Pasita James Malinga
13 – Gonzaga Matovu
14 – Mikidard Kasolo