Omuyimbi Geoffrey Lutaaya awadde bannayuganda esuubi nti awadde yalondeddwa ng’omubaka we Kakuuto, alina okusigala ng’ayimba kuba ye musajja wa Talenti.
Lutaaya nga ye nannyini The New Eagles production Band agamba nti wadde agenda kukendeza obudde bwa siteegi n’ebivvulu okusobola okuteeseza abantu b’e Kakuuto, alina ebintu bingi byasuubira okukola.

Lutaaya agamba nti ng’atuuse mu Palamenti, ensonga y’etteeka lya ‘Copy Right Law’ liddamu okukolebwako ennongoosereza kuba wadde lyayisibwa naye terikola era y’emu ku nsonga lwaki abayimbi balemeddwa okufuna ssente mu nnyimba zaabwe.

Agamba nti etteeka lya ‘Copy Right Law’ ligenda kuyamba nnyo endongo agikubye nga ‘Honourable’ n’okuyamba okutumbula talenti z’abantu mu ggwanga.

Lutaaya era awadde mukyala we Irene Namatovu n’abalonzi obwesigwa bw’asuubiza okukola ku nsonga ezinyigiriza abalonzi be Kakuuto.

Ensonga endala zaagenda okusoosowaza mwe muli ebyobulamu, ebyenjigiriza, enguudo n’okuyambako abatuuze b’e Kakuuto okutumbula ebyenfuna.