Omwana omu (1) afiiriddewo mbulaga ate musanvu (7) bali mu mbeera mbi mu disitulikiti y’e Luweero oluvanyuma lw’okulya chipusi omuteekeddwa obutwa ku kyalo Kanseka-Kyampisi mu ggoombolola y’e Bamunanika.

Abaana abali mu ddwaaliro bali wakati w’emyaka 2 ku 15 ate afudde ategerekeseeko erya Isma.

Emmanuel Ssettuba, ssentebe w’ekyalo agamba nti waliwo omusajja eyatwalidde abaana chipusi ku ssaawa nga 3 ez’ekiro nabategeeza nti kitaabwe Mustapha Lule yazibasindikidde.

Ssettuba agamba nti abaana oluvanyuma lw’okulya Chipusi,  baatandikiddewo okusesema era abazadde bageenze okudda ng’abaana bali mu mbeera mbi kwe kubaddusa mu ddwaaliro lya Orient Medical Center mu Katawuni k’e Wobulenzi, ekyembi omu yafudde.

Ssentebe Ssettuba

Oluvanyuma omutemu yakomyewo era enju yonna yagikumyeko omuliro mu kiseera ng’abazadde n’abaana bali mu ddwaaliro.

Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah agambye nti Poliisi etandiise okunoonya omusajja eyawadde abaana chipusi z’obutwa ku misango gy’okutta omuntu.

Ssemwogerere agamba nti okunoonyereza kulaga nti omusajja eyawadde abaana obutwa era yeyayokeza ennyumba.

Ssemwogerere owa Poliisi