Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform -NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) addukidde mu kkooti ensukulumu okuwakanya obuwanguzi bwa ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino.

Mu kkooti, Kyagulanyi alopye Muzeeyi Museveni, akakiiko k’ebyokulonda ssaako ne ssaabawolereza wa Gavumenti era akulembeddwamu Kampuni 5 ez’abannamateeka nga bakulembeddwamu Lukwago and Company Advocates.

Mu kuwaaba kwe, Kyagulanyi awakanya ebyavudde mu kulonda lw’omukulembeze w’eggwanga nga 14, omwezi oguwedde ogwa Janwali, ebyalangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama nga 16, omwezi oguwedde.

Mu kulangirira okwasooka, Museveni yafuna obululu 5,851,037 ate Kyagulanyi eyakwata eky’okubiri  3,475,298.

Ate ebyalangiriddwa ebyenkomeredde sabiiti ewedde ku Lwokuna nga 28, omwezi oguwedde, Museveni yafunye obululu 6,042,898 ate Kyagulanyi 3,631,437.

Related Stories
BAMBI! Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by’emmotoka ya Bobi Wine, biwanvuye

Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by'emmotoka! Ebitongole ebikuuma ddembe omuli amaggye ga Uganda Read more

6 Busted For Robbing Chinese, Disguised As National Water Staff

3 Busted For Robbing Chinese Kampala Metropolitan Police has revealed that 6 suspected thugs behind Read more

Wabula Kyagulanyi agamba nti okulonda, tekwatambulira ku mateeka era ebyalangiriddwa byabadde bikyamu ddala.

Anokoddeyo eky’ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amkaggye okumulemesa okuba Kampeyini, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Oluvudde mu kkooti, bannamateeka ba Kyagulanyi nga bakulembeddwamu Medard Sseggona balemeddeko okusuuza mukulu Museveni entebe era agamba nti balina okumunoonya okumukwasa ebiwandiiko bya kkooti ku misango gy’okuwakanya obuwanguzi bwe.

Munnamateeka Ssegona