Kabinenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni eyisizza ekiteeso eky’amassomero okugulwawo abayizi abamu okuddayo okusoma wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa, tewali nnaku za mwenzi ziteekeddwawo abayizi okuddamu okusoma wabula bakkiriziganyiza abayizi okudda ku massomero wakati mu kuteekawo embeera zonna ez’okulwanyisa Covid-19.
Mu ngeri y’emu Banamisita, bagamba nti mu kiseera kino abayizi, abali mu kibiina eky’omukaaga (P6), S3 ne S5 bandibadde bakkirizibwa okudda ku massomero okusoma n’abayizi abali mwaka ogusembayo okuli ab’ekibiina eky’omusanvu (P7), S4 ne S6 abasemberedde okutuula ebigezo.
Mu ngeri y’emu kabinenti egamba nti abayizi abali mu kibiina ekyawansi, bakusigala nga basomera waka nga singa baddayo ku masomero, tebasobola kuteeka mu nkola ngeri zakulwanyisa Covid-19 ate okwegata wakati w’abayizi, abasomesa n’abazadde, kiyinza okwongera okutambuza obulwadde.
Wabula ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Muaseveni asuubirwa okwogerako eri eggwanga akawungeezi k’olunnaku Olwokuna okutangaza eggwanga ku nzonga ezo.