Bannansi mu ggwanga erya South Africa bafunye akamwenyumwenyu, omukulembeze w’eggwanga Cyril Ramaphosa bw’addirizza ku bukwakkulizo bw’okulwanyisa Covid-19.

Mu birangiriddwa, bannansi bakkiriziddwa okudda ku Beach okulya obulamu, amasinzizo bakkiriza abantu abasamusaamu, obuduuka obutunda omwenge okuddamu okunoga ensimbi okuva ku ssaawa 4 ez’okumakya okutuusa 12 ez’akawungeezi, okuva ku Mande okutuusa ku Lwokuna ne swimming pools ziguddwawo.

Abantu abagenda okutambula, balabuddwa okwambala masiki wakati mu kulwanyisa ekirwadde.

South Africa mu Africa y’emu ku nsi ezikoseddwa ennyo Covid-19 nga yakafuna abalwadde abasukka 1,400,000 ate yakafiisa 44,164.

Ate ku nsonga y’abaana bonna okudda ku massomero, Pulezidenti Ramaphosa agambye nti bali mu kwekeneenya mbeera wakati mu kulwanyisa Covid-19, okusalawo ekiddako.