Abalonzi, bawadde ezimu ku nsonga lwaki munnakibiina kya NRM Agnes Kirabo, alondeddwa okukiikirira abavubuka ba Buganda mu palamenti y’eggwanga.

Mu kulonda okubadde ku ttendekero ly’abasomesa e Mubende, Kirabo awangudde abantu 7 ng’afunye obululu 780, Ivan Bwowe ng’abadde Yindipendenti akutte kyakubiri ng’afunye obululu 85.

Kirabo wakati oluvanyuma lw'okuwangula
Kirabo wakati oluvanyuma lw’okuwangula

Abalala Michael Katongole 78, Simon Sennyonga 49, Ziritwawula Abdel Kareem 9, munna FDC Kasumba Gyaviira 9 nga ne Semmamba Alvin afunye akalulu 1.

Ate munna NUP Moses Kasule yagiddwamu, ku bigambibwa nti yakozesa omuntu nga si mulonda, okumuteekera omukono ku biwandiiko ebimukkiriza okwesimbawo, ekintu ekimenya amateeka.

Related Stories
BAMBI! Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by’emmotoka ya Bobi Wine, biwanvuye

Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by'emmotoka! Ebitongole ebikuuma ddembe omuli amaggye ga Uganda Read more

6 Busted For Robbing Chinese, Disguised As National Water Staff

3 Busted For Robbing Chinese Kampala Metropolitan Police has revealed that 6 suspected thugs behind Read more

Wabula Axam Sulaiman Mpagi, ‘Delegate’ okuva e Wakiso omu ku balonzi, agamba nti Kirabo muntu w’abantu ate mu kulonda, baalonze busoobozi si kibiina.

Sulaiman One

Ate Mugema Isha okuva e Luweero, agambye nti kirabo alaze nti alina obusoobozi okukola ku nsonga z’abavubuka era y’emu ku nsonga lwaki alondeddwa.

Okusinzira ku Robert Beine, eyakuliddemu eby’okulonda, abalonzi baabadde 1007 ng’obululu 3 bw’afudde.