Bya Nakaayi Rashidah

Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu atabukidde ekitongole ky’amakkomera okwenyigira mu kutyoboola eddembe ly’obuntu.

Kyagulanyi agamba nti kimenya amateeka okusindikiriza omuntu yenna okusalako enviri ng’asindikiriziddwa, nga bwe kyakoleddwa ku Edward Ssebufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, omuyimbi Bukeni Ali amanyikiddwa nga Nubian Li nga bali mu kkomera gye basindikibwa ku misango gy’okusangibwa n’ebintu by’amaggye mu ngeri amenya amateeka.

Nubian Li
Nubian Li

Kyagulanyi bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu makaage e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso, ajjukiza abakulu mu kitongole ky’amakkomera nti okusalako omuntu yenna enviri ku buwaze, kimenya amateeka era abaakikoze balina okweddako.

Related Stories
BAMBI! Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by’emmotoka ya Bobi Wine, biwanvuye

Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by'emmotoka! Ebitongole ebikuuma ddembe omuli amaggye ga Uganda Read more

6 Busted For Robbing Chinese, Disguised As National Water Staff

3 Busted For Robbing Chinese Kampala Metropolitan Police has revealed that 6 suspected thugs behind Read more

Agamba nti Nubian ne Eddy Mutwe baakwatibwa n’abantu ab’enjawulo kyokka bo okusalwako enviri zaabwe, bikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu.