Abasirikale abakesi ku kitebe kya CID, bakutte omusajja Odaka Jimmy amanyikiddwa nga Governor myaka 28 ku misango gy’okufera abantu ssente obukadde 500 ng’abasuubiza okubaguza Golodi.

Omukwate mutuuze mu Tawuni Kanso y’e Mirumu mu disitulikiti y’e Abim era asangiddwa nga yekwese mu disitulikiti y’e Soroti.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi ya CID, Twiine Charles, Poliisi yafunye okwemulugunya ku musuubuzi Boniface Mumbere nga yafereddwa obukadde 85.

Poliisi egamba nti erina fayiro z’emisango egisukka 70 mu bitundu bye Abim ne Soroti ku bantu abafereddwa ssente zaabwe.

Odaka olukwattiddwa, agambye nti aludde nga yenyigira mu kufera abantu ensimbi kyokka ezamuweereddwa obukadde obusukka mu 80, aliko abantu be yaziwadde ne bazigabana, abadduse mu kiseera kino.

Wabula Twine agamba nti okunoonyereza ku nsonga eyo, kutandikiddewo.