Omuyimbi Sheebah Kalungi okuva mu Team No Sleep alondeddwa okuvuganya mu ‘Award’ za Nickelodeon Kid’s Choice 2021 ng’omuntu asinga okwagalwa mu Africa.
Sheebah okuwangula, alina okumega abantu omuli Zozibini Tunzi, Thuso Mbedu ne Siya Kolisi okuva South Africa, Mo Salah (Egypt) ne Sadio Mane okuva mu ggwanga erya Senegal.

Eddy Kenzo

Mu Uganda, Eddy Kenzo ye muntu yekka alina Award ya Nickelodeon gye yawangula mu 2018 oluvanyuma lw’okuwangula abantu omuli Davido, Diamond platinumz, Casper Nyovest, munnakatemba Emanuela ku ky’omuntu asinga okukyamula abantu mu Africa era kati Sheebah alondeddwa okuvuganya ku byafaayo bye Kenzo.

Mu ngeri y’emu n’abaana ba Ghetto Kids balondeddwa okuvuganya ku kya ‘Favorite African Social Media star’ era okuwangula balina okumega Elsa Majimbo (Kenya), Bonang Matheba ne Wiam Van den Berg okuva mu ggwanga erya South Africa, Ikorodu Bois ne Emmanuella e Nigeria.