Poliisi ekutte abantu 2 ku misango gy’okutta abantu 4 kyalo Kiziba mu Tawuni Kanso y’e Nakaseke mu disitulikiti y’e Nakaseke nga busasaana enkya ya leero.

Abatemu balumbye amaka ne bagateekera omuliro era abantu 4 bafiiriddemu omuli abaana 3 Gladys Nanyonjo myaka 4, Christine Nakate, 5, Steven Bamulasa, 12 ne jjajja waabwe Matia Lukwago Kabalega ali mu gy’obukulu 85.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Sebastian Mpagi, abantu abatamanyiddwa kigambibwa bayingidde mu nnyumba ku ssaawa nga 7 ez’ekiro.

Ssentebe Mpagi agamba nti wadde jjajja Lukwago yabadde agezaako okudduka, yakubiddwa oluggi olwabadde olukutte omuliro.

Omu ku baana abaasimatuse okufa ali mu gy’obukulu 14, agamba nti ekiro yalabye abasajja 4 nga bakutte ekidomola, bayiwa mu nnyumba oluvanyuma ne bateekera enju omuliro era ye, yabadde amannyi babbi kyokka ye yasobodde okuyita mu ddirisa, okusimatuuka okufa.

Wabula Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah, agambye nti Poliisi esobodde okukwata abantu 2 okuyambako mu kunoonyereza kyokka agaanye okwatuukiriza amaanya ge.