Ttiimu y’abasirikale abatendeke okuva mu offiisi y’omukulembeze w’eggwanga erya Congo, bayingidde mu nsonga z’okunoonyereza ku by’okutta Ambasadda wa Italy Luca Attanasio.

Okusinzira ku mukulembeze w’eggwanga Felix Tshisekedi, Ambasadda Attanasio myaka 43 yattiddwa abatujju era Offiisi ye, egenda kutegeeza Gavumenti ya Italy mu butongole ssaako n’okwenyigira mu kunoonyereza.

Luca Attanasio

Abasirikale bageenda kusindikibwa mu bitundu bye Goma, Ambasadda gye baamutidde mu ‘Ambushi’ eyateekeddwawo abatujju abali mu kunoonyezebwa.

Wabula wadde Ambasadda yattiddwa, tewali kabinja k’abatujju kalaga nti kenyigidde mu kikolwa ekyo newankubadde ebitongole ebikuuma ddembe byongedde amaanyi mu kunoonyereza.

Bakomando mu kifo Attanasio we bamukubidde amasasi

Mu bulumbaganyi, Ambasadda yattiddwa n’omusirikale munnansi wa Italy abadde omukuumi we, dereeva munnansi wa Congo era Ministule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga egamba nti abatujju kirabika baabadde balina ekigendererwa eky’okuwamba abantu.

Wabula Ambasadda we ssaza lye North Kivu, Carly Nzanzu agamba nti abatujju baabadde mukaaga (6) era Ambusi yateekeddwa okumpi n’ekkumiro ly’ebisolo erya Virunga National Park, Ambasadda gye baamukubidde amasasi era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro.
Ambasadda Attanasio ye Ambasadda ow’okubiri okuttibwa oluvanyuma lwa Ambasadda wa Bufalansa Philippe Bernard okubwa amasasi mu kwekalakaasa okwali mu kibuga Kinshasa mu 1997.