Mu nsi y’omukwano, kkiisi kye kimu ku bintu abaagalana bye bakola nga beetegekera akaboozi okusobola okweteeka mu mbeera oba okulaga nti ddala oli mu laavu.

Olunnaku olwaleero, Ssenga Kawomera akuletedde amakulu agali mu kkiisi mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo.

Ssenga agamba nti waliwo kkiisi y’omu Kyenyi, ennyindo, ku mumwa, mu bulago, mu kamwa munda, kkiisi wakati mu kaboozi n’ekkiisi y’olulimi.

1 – Kkiisi y’oku bulago, Ssenga Kawomera agamba nti eraga nti munno alina ekirala ky’ayagala era omuntu yenna atageera omukwano, alina okumanya nti munne alina ky’abanja ekirala.

2 – Waliwo kkiisi y’oku mumwa era Ssenga Kawomera agamba nti ebiseera ebisinga obungi, eraga nti ddala waliwo omukwano era esinga kusangibwa mu bafumbo nga bali mu laavu.

3 – Mu kyenyi. Abantu nga baamukwano nnyo, basobola okwewa kkiisi y’omu kyenyi era eraga nti ddala waliwo enkolagana ennungi wakati wamwe.

4 – Waliwo kkiisi wakati mu kaboozi era Ssenga agamba nti eyamba nnyo okwongera ebisoko mu kikolwa wakati mu kusinda omukwano.

5 – Kkiisi y’oku nnyindo. Abantu nga bali mu laavu, bategera okuzannya obuzannyo obw’enjawulo era kkiisi y’oku nnyindo eyamba nnyo wakati mu kuzannya.

6 – Kkiisi y’omu Kamwa eraga nti ddala munno omwagala kuba ebeeramu okunuuna munno emimwa ogwa wansi n’ogwa waggulu nga tewali kwebwalabwala wadde waliwo abantu.