Amawulire agava mu ggwanga erya Nigeria galaga nti abatujju bazzeemu okuwamba abayizi, nga bagiddwa ku ssomero nga busasaana enkya ya leero mu ssaza lye Zamfara mu kibuga Jangebe.

Abayizi abatwaliddwa baana babuwala abasukka 300.

Okusinzira ku basomesa ssaako n’abazadde abamu abasangiddwa ku ssomero mu kiseera ky’okuwamba abayizi, abatujju abazze nga bakutte emmundu, ebijjambiya ssaako n’abamu okwambala obukokolo.

Poliisi y’omu kitundu tennaba kuvaayo okwogera ku nsonga eyo wabula bo abazadde amaziga, gatandise okubayitamu.

Kigambibwa abatujju b’akabinja ka Boko Haram, abasinga okutawanya eggwanga erya Nigeria, bebenyigidde okutwala abaana.

Abazadde abalina okutya nti baana baabwe, bayinza okusobezebwako mu nsiko gye batwaliddwa, kwe kusaba ebitongole ebikuuma ddembe, okuyamba okutaasa abaana.