Abatuuze abasukka mu 500 ku byalo okuli Kigombya ne Kiwugo mu disitulikiti y’e Mukono batabukidde Gavumenti okubakaabya amaziga, olw’okubalemesa okuzimba ku ttaka lyabwe.

Abatuuze bagamba nti pulojekiti y’oluguudo lw’egaali y’omukka eya Standard Gauge Railway (SGR), yabalemesa okuzimba ku ttaka lyabwe ne basuubizibwa, okusasulwa mu 2016.

Bernard Jjuuko omu ku batuuze abetaaga ssente zaabwe

Bagamba mu kiseera kino bakooye okupangisa kyokka n’okuzimba tebasobola kuzimba nga ne ssente ezabasuubizibwa okuyisa oluguudo ku ttaka lyabwe, tebazifunaanga.

Abatuuze Mukono

Ate ssentebe w’ekyalo Kigombya James Mujunga, agamba nti bawadde Gavumenti nsalesale wa myezi 4 gyokka nga singa balemwa okuwa abatuuze ssente zaabwe, bagenda kwediza ettaka lyabwe.

Ku nsonga ezo, omuwandiisi w’enkalakalira mu Minisitule y’enguudo ebyentambula Waiswa Bagaya agambye nti ensonga y’abatuuze emanyikiddwa wabula mu kiseera kino bakyanoonya ssente okubasasula n’okutambuza entekateeka y’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka.

Bagaya