Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu basisinkanye ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya okusabira abantu abazze bakwattibwa, abali makkomera ag’enjawulo ssaako n’abo abazze battibwa.
Okusaba kukulembeddwamu Sheik Luganzi Faheem okuva e Kawempe ssaako Pasita Dorothy Nalongo from Bulenga.

Abamu ku bantu bebasabidde abali mu makkomera mwe muli omuyimbi Nubian Li, Eddy Mutwe ne banaabwe abasukka 30 abali makkomera ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka era nga bali mu kkooti y’amaggye.

Bobi Wine bw’abadde ayogerako eri bannakibiina, abagumizza era abasuubiza okukola kyonna ekisoboka nga beyambisa amateeka okutaasa abantu baabwe abali makkomera kuba tebalina misango.
Bobi Wine agamba nti abamu ku basibe, okuwagira NUP n’okulaga nti betaaga enkyukakyuka mu ggwanga, y’emu ku nsonga lwaki bali mu makkomera ku misango emijweteke.