Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu basisinkanye ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya okusabira abantu abazze bakwattibwa, abali  makkomera ag’enjawulo ssaako n’abo abazze battibwa.

Okusaba kukulembeddwamu Sheik Luganzi Faheem okuva e Kawempe ssaako Pasita Dorothy Nalongo from Bulenga.

Bobi Wine ne banne e Kamwokya

Abamu ku bantu bebasabidde abali mu makkomera mwe muli omuyimbi Nubian Li, Eddy Mutwe ne banaabwe abasukka 30 abali makkomera ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka era nga bali mu kkooti y’amaggye.

Abamu ku bannakibiina ku kitebe kya NUP e Kamwokya mu kusaba
Related Stories
BAMBI! Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by’emmotoka ya Bobi Wine, biwanvuye

Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by'emmotoka! Ebitongole ebikuuma ddembe omuli amaggye ga Uganda Read more

6 Busted For Robbing Chinese, Disguised As National Water Staff

3 Busted For Robbing Chinese Kampala Metropolitan Police has revealed that 6 suspected thugs behind Read more

Bobi Wine bw’abadde ayogerako eri bannakibiina, abagumizza era abasuubiza okukola kyonna ekisoboka nga beyambisa amateeka okutaasa abantu baabwe abali makkomera kuba tebalina misango.
Bobi Wine agamba nti abamu ku basibe, okuwagira NUP n’okulaga nti betaaga enkyukakyuka mu ggwanga, y’emu ku nsonga lwaki bali mu makkomera ku misango emijweteke.