Tubikooye, tubikooye tubikooye era Minisita Odongo oli mulimba
Abamu ku bakyala mu disitulikiti y’e Wakiso bakedde kwekalakaasa nga bawakanya okwegata ku nsi yonna, okuza olunnaku lw’abakyala ate ng’embeera gye balimu eyungula amaziga.
Abakyala bano nga bakulembeddwamu amyuka ssentebe wa disitulikiti Betty Naluyima n’omuwandiisi ku nsonga z’ebyobulamu n’ebyenjigiriza Margret Nakitende, bakutte ebipande okuwandikiddwa ebigambo omuli ‘Obunkenke, okubanja eddembe ly’obuntu’ era bagambye nti, tebasobola kujjaguza lunnaku lwabwe nga bangi ku bakyala bali makkomera, basajja baabwe ssaako n’abaana baabwe.
Okusinzira ku ‘List’ y’abantu abazze bakwatibwa eyafulumiziddwa ekibiina ki National Unity Platform (NUP) abantu baabwe abasukka 30 omuli Sserunkuuma Johnbosco ne Galiwango Rogers abatuuze be Nansana, Kibalama Johnbosco omutuuze we Namayumba, Sekitooleko Dennis , Sowedi Bbosa, Migadde Kassim, Asraf Nsubuga, Julius Buwembo, Emmanuel Katongole, Kiyemba Ronald n’abalala, tebali ku ‘List’ eyafulumiziddwa Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo bwe yabadde mu Palamenti sabiiti ewedde ku Lwokuna.
Wabula Naluyima, eyalondeddwa ng’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso ne banne bagamba nti bangi ku bantu abazze batwalibwa, bali mu mbeera mbi nga batulugunyiziddwa, abalala bakyabuze gye batwalibwa, ekyongedde okaabya abakyala era y’emu ku nsonga lwaki, bakedde kwekalakaasa.
Balabudde nti bakweyongera okwekalakaasa okutuusa ng’abantu abazze bakwatibwa ne batwaliddwa bayimbuddwa oba okutwalibwa mu kkooti.
Okwekalakaasa kubadde ku kitebe kya disitulikiti y’e Wakiso era Poliisi ekkiriza abakyala okwekalakaasa nga tewali akwatiddwako.
Ate Catherine Namuddu, Kansala omulonde owe Ndejje mu disitulikiti y’e Wakiso, agamba nti obutawagira Gavumenti si musango kwe kusaba Gavumenti okuyimbula abantu bonna, abazze batwalibwa mu ngeri emenya amateeka.
Okusinzira ku Minisita Odongo, Gavumenti erina abantu 177 abali mu mikono gyabwe ng’abantu 43 baakwatibwa lwa kwekalakaasa, 156 lwakusangibwa n’ebintu by’amaggye, 17 baakwatibwa nga batekateeka kwekalakaasa oluvanyuma lw’okulonda nga 14, Janwali, 2021 ate abantu 6 bayimbulwa kakalu ka Poliisi.
Wabula aba NUP bagamba nti balina ‘List’ y’abantu 423 abazze bakwattibwa okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okusingira ddala mu Buganda.
Minisita Odongo agamba nti omuntu yenna ng’alina omuntu we eyatwalibwa, alina okutwala alipoota ku Poliisi, okuyambako mu kunoonyereza.