Wuuno taata abadde asaba omwana omuto okwegata ne bakulu be olw’embeera embi omuli obwavu akwattiddwa abitebye.
Poliisi y’e Mityana ekutte ssemaka ku misango gy’okusindikiriza omwana omuwala ali mu gy’obukulu 16 okwegata ne baganda be.
Krizestom Ssebuuma myaka 70 nga mutuuze ku kyalo Jjungwe mu ggoombolola y’e Bulera, nga yakazaala abaana 10 yakwattiddwa.
Ssebuuma agamba nti abaana be balina okwegata, nga y’engeri yokka eyinza okuyambako mu kulwanyisa obwavu, abaana abawala okufumbirwa ssaako n’abalenzi okufuna abakyala n’okutandiika amaka gaabwe.
Wabula omwana omuwala ku myaka 16 yaddukidde eri abakulembeze b’omu kyalo, nga kitaawe amutabukidde nti yabasibyeko embeera embi, olw’okugaana okwegata ne baganda be abalenzi ate nga banne bakikola dda, ate nga balenzi, besuunze okutuukiriza emikolo gya famire, okusobola okubagya mu mbeera mbi.
Ssebuuma agamba nti abawala abakulu 2 begata dda ne baganda baabwe abalenzi era omuwala omuto yasigadde okutaasa famire.
Ssentebe w’ekyalo Saul Kabuuza, agamba nti omwana omuwala olw’amutuukiridde ng’ali maziga olwa kitaawe okusindikiriza okwegata ne baganda be, y’emu ku nsonga lwaki Poliisi yayitiddwa ssaako n’abakulembeze okutuula mu nsonga.
Ate Edward Katende akulira Poliisi y’e Bulera agambye nti ssemaka Ssebuuma akwatiddwa ayambeko Poliisi mu kunoonyereza ku nsonga z’omwana.
Mungeri y’emu alagidde abakulembeze ku kyalo, okuyambako mu kunoonya omutabani omukulu ku misango gy’okusindikiriza muto we okwegata naye.
Okusinzira ku ssemateeka wa Uganda, omuntu yenna singa asindikiriza ab’oluganda okwegatta asibwa emyaka 7 ate singa kikolebwa abaana abato, ayinza okusibwa amayisa.
Ate mu kkooti, munnamateeka Male Mabirizi addukidde mu kkooti ya East Africa e Kololo mu Kampala okutaasa bannayuganda abali maziga mu kiseera kino.

Mabirizi aloopye eggwanga y’e Kenya olw’okuwera ebintu bya Uganda eby’enjawulo omuli ennyama y’ente, enkoko, amagi ssaako ne Kasooli, eyaganiddwa sabiiti ewedde.
Kenya yagaanye okuddamu okuyingiza kasooli yenna ava mu Uganda n’eggwanga erya Tanzania nga bagamba nti, tali ku mutindo.
Kenya egamba nti kasooli wa Uganda alimu ekirungo ekyobulabe ekya ‘aflatoxin’ ekigambibwa okulwaza kookolo ssaako n’endwadde endala.
Wabula Mabirizi agamba nti kyewunyisa Kenya okuyimiriza Uganda okutwalayo ebintu ate nga tuli mu mukago ogwa East Africa era y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okugenda mu kkooti ya East Africa.