Bobi Wine alaze Barbie omukwano mu lwatu mu ngeri y’okwebuuza nkwateko!

Ekifaananyi nga Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ng’ali ne kabiite we Barbara Itungo Kyagulanyi ku mukolo ogwabadde mu maka gaabwe e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso kyongedde okwogeza abantu obwama.

Mu Uganda, bangi ku bannayuganda begoomba omukwano wakati wa Kyagulanyi ne Barbie olw’engeri gye beyisaamu n’okulya obulamu.

Barbie ne bba Bobi Wine

Mu mwaka 2017, Kyagulanyi bwe yali avuganya ku ky’omubaka we Kyadondo East, yasuubiza Barbie nti alina okubaako ‘First Lady’ wa Uganda nga kyali kitegeeza nti alina okwesimbawo okuwangula obwa Pulezidenti bwa Uganda.

Bobi Wine y’omu ku bantu 11 abavuganyiza ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021 era abamu ku bawagizi be omuli ne kabiite we Barbie babadde balina essuubi nti alina okuwangula obwa Pulezidenti.

Barbie ne Bobi Wine mu Kampeyini e Kisoro

Wabula ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni yazzeemu okuwangula obwa Pulezidenti bwa Uganda era Bobi Wine yamalidde mu kifo kyakubiri, batyo Barbie yasubiddwa omukisa okugenda mu ‘State House’ nga ‘First Lady’ wa Uganda mu 2021 ng’alina kulinda 2026 okufuna essuubi, Bobi Wine singa addamu okwesimbawo.

Bobi Wine wadde yabadde agenze mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni, omusango yagugyeyo mu kkooti.
Agamba nti okumulemesa okutwala obujjulizi mu kkooti, y’emu ku nsonga lwaki yabadde alina okuggyayo omusango, gutwalibwe mu kkooti y’abantu omuli okwekalakaasa okw’emirembe okubanja obuwanguzi bwabwe.

Wabula bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ne bannakibiina mu makaage e Magere, Bobi Wine wadde alina situleesi ku nsonga ez’enjawulo, yalabiddwako ng’awayamu ne musajja munne omuyimbi Dennis Kawuki eyeeyita Dr. Bitone nga ne kabiite Barbie we aliko omuntu omulala gwe yabadde anyumya naye.

Ekifaananyi kyabwe

Wabula omu ku muwagizi wa Bobi eyategerekeseeko erya Juma yasobodde okweyambisa akaseera ako era yagambye nti kirabika omusajja yagambye nti Bobi Wine “Nkwateko ku ntebe oba ku lugoye lwa Barbie nfune emikisa” wabula mbu Bobi mu kwanukula mu ngeri y’okusaaga yagambye nti, ‘kyali wange Barbie mwesonyiwe” ate ku ky’entebe mbu yagambye nti “eyo entebe yange“.