Bobi Wine awadde Museveni obukwakulizo obupya 4, alemeddeko okumuggya mu ntebe y’obwa Pulezidenti.

Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) awanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni okuyimbula abantu bonna, abazze bakwatibwa olw’ensonga z’ebyobufuzi.

Kyagulanyi agamba nti bangi ku bazze bakwatibwa bali mu makkomera, abamu baatulugunyizibwa era nga kiteeberezebwa, abamu bayinza okuba battibwa.

Mungeri y’emu avumiridde eky’okutwala abantu babuligyo mu kkooti z’amaggye omuli Eddy Ssebufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, Ali Bukeni (Nubian Li) ne banne, abali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni

Kyagulanyi asinzidde ku kitebe kya NUP e Kamwokya mu kulaga obujjulizi obwaganiddwa mu kkooti ensukkulumu nga baagala okubweyambisa okuwakanya obuwanguzi bwa Muzeeyi Museveni mu kulonda okuwedde okwa 14, Janwali, 2021 wakati mu byokwerinda, nga n’ennyonyi ya Poliisi erabiddwako waggulu ku kitebe mu ngeri y’okulawuna ekitundu.

Ennyonyi ku kitebe kya NUP

Kyagulanyi ayongedde okubanja ebintu eby’enjawulo ate mu bwangu, omuli obuwanguzi bwe ku ky’obukulembeze bw’eggwanga era agamba nti yafuna ebitundu 54% n’okuyimbula abantu bonna abazze bakwatibwa ebitongole ebikuuma ddembe.

Olunnaku olwaleero, alangiridde nti omusango gw’ebyokulonda ogwagiddwa mu kkooti, aguziza eri abalonzi ssaako n’okulangirira okwekalakaasa okw’emirembe okutuusa nga bafunye enkyukakyuka gye betaaga.

Ate Munnamateeka Male Mabirizi addukidde mu kakiiko akalonda abalamuzi mu ggwanga ka Judicial Service Commission okusaba okuggya Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo mu offiisi.

Munnamateeka Male Mabirizi

Mabirizi agamba nti Ssaabalamuzi Owiny Dollo yakola nsobi, okuzanyira mu musango gwa Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ogwali mu kkooti ensukkulumu ng’awakanya obuwanguzi bwa munna NRM Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okwaliyo nga 14, Janwali, 2021.

Mu kkooti, Mabiriza agamba nti ensonga ya Ssaabalamuzi Owiny Dollo okuzanyira mu musango gwa Kyagulanyi, y’emu ku nsonga lwaki gwagiddwa mu kkooti era Ssaabalamuzi, naye balina okumuggya mu offiisi.

Ssaabalamuzi Owiny Dollo

Munnamateeka Mabirizi agamba nti bannayuganda okusigala nga balina obwesigwa mu kitongole ekiramuzi, Ssaabalamuzi Owiny Dollo alina okuva mu offiisi kuba asukkiridde okuwebuula ekitongole ekiramuzi.
Mu kkooti wadde ezimu ku nsonga omuli Owiny Dollo okuba munnamateeka wa Pulezidenti Museveni mu kkooti mu 2006, Dr Kizza Besigye owa FDC bwe yali addukidde mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Museveni mu kulonda kwa Pulezidenti Museveni.
Mungeri y’emu agamba nti Owiny Dollo okulemesa Kyagulanyi okutwala obujjulizi mu kkooti nga 19, Febwali, 2021, kabonero akalaga nti alemeddwa okutambulira mu mateeka.