Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo agaanye okuva musango gwa Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) gwe yatwala mu kkooti ensukkulumu.

Kyagulanyi yaddukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okwaliwo omwezi oguwedde nga 14, Janwali, 2021.

Wabula olunnaku olw’eggulo, Kyagulanyi yalagidde bannamateeka be okwanguwa okuggyayo omusango mu kkooti.

Mu kuggyayo omusango Kyagulanyi yagambye nti kkooti eremereddwa okulaga nti betengeredde mu ntambuza y’emirimu, oluvanyuma lw’okutwala omusango mu kkooti, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, yakasisinkana Museveni emirundi 3.

Mungeri y’emu yagambye nti omuntu yenna okuwangula omusango mu kkooti, alina okuba ng’alina obujjulizi kyokka kkooti ensukkulumu, yamulemesezza okutwala obujjulizi mu kkooti nga tewali nsonga yonna, lwaki basigala mu kkooti nga tebasuubira mazima na bwenkanya.

Newankubadde Kyagulanyi ne bannamateeka be bali mu ntekateeka ez’okuggya omusango mu kkooti, munnamateeka Male Mabirizi, naye abadde mu kkooti y’emu ku nsonga y’okusaba Ssaabalamuzi Owiny-Dollo okulangirira nti avudde musango gwa Kyagulanyi.

Munnamateeka Mabirizi ezimu ku nsonga zabadde awa mu kkooti, agamba nti mu kulonda kwa 2006, Ssaabalamuzi Owiny-Dollo yali munnamateeka wa Museveni, munna FDC Dr. Kizza Besigye bwe yali aduukidde mu kkooti ensukkulumu okuwakanya ebyali bivudde mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga.

Agamba nti Ssaabalamuzi Owiny-Dollo okubaako munnamateeka wa Museveni tasobola kwetengerera ku nsonga ezigenda mu maaso mu kkooti ezimu omuli n’omusango gwa Kyagulanyi.

Wabula Ssaabalamuzi Owiny-Dollo agaanye okuva musango era asuubiza okuwa ensonga ze gye buggya mu maaso.