Amyuka Ssaabalamuzi wa Uganda, Alfonse Owiny-Dollo atabukidde ababaka ba Palamenti okwagala okutabangula eggwanga lino nga berimbika mu nkola ya demokulasiya.

Owiny-Dollo agamba nti ababaka ba Palamenti mu nkyukakyuka ezakolebwa mu sseemateeka w’eggwanga lino omwaka oguwedde ogwa 2017, beyongeza emyaka ebiri ku gy’ekisanja ng’abalonzi, balonda buli mubaka emyaka etaano (5) kyoka mu kiseera kino bagamba bageende kuweereza emyaka musaanvu (7).

Mungeri y’emu agambye nti ababaka okweyongeza emyaka ebiri (2) kigenda kutataaganya abalonzi omuli n’abbo abaagala okwesimbawo ku ky’omubaka wa Palamenti nga balindiridde 2021.

Ababaka ba NRM
Ababaka ba NRM

Alfonse Owiny-Dollo okutabuka abadde agasimbaganye ne bannamateeka ba Gavumenti enkya ya leero mu kkooti sseemateeka eyatwalibwa mu kizimbe kya kkooti enkulu e Mbale okuwuliriza okwemulugunya kw’abantu abenjawulo abawakanya enkyukakyuka ezakolebwa mu sseemateeka wa Uganda ku tteeka eriggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti lyayisibwa mu mateeka omwaka oguwedde ogwa 2017.

Omusango guno guwulirwa abalamuzi 5 okuli, amyuka Ssaabalamuzi Alfonse Owiny- Dollo, Remmy Kasule, Kenneth Kakuru, Cheborion Barishaki ne Elizabeth Musoke.

Abawakanya ekyukakyuka ezakolebwa
Abawakanya ekyukakyuka ezakolebwa

Abantu bataano (5) be baaloopa emisango gya ‘Togikwatako’ omuli, abalooya abeegattira mu kibiina kya Uganda Law Society, Male Hassan Mabiriizi, Karuhanga Kafureeka, Jonathan Abaine, ababaka ba Palamenti mukaaga (6) okuli Gerald Karuhanga (Ntungamo Municipality), Jonathan Odur (Erute County), Mubarak Munyagwa (Kawempe South), Allan Ssewanyana (Makindye West) ne Ibrahim Ssemujju (Kira Municipality) nga bakulembeddwamu munnamateeka wabwe Ssalongo Erias Lukwago.

Omusango olunnaku olwaleero, guyingidde olunnaku olwokuna.