Sipiika Among ayongedde okulaga amaanyi, awaddeyo 1B.

Palamenti ewaddeyo Biriyoni emu (1B) ku  Biriyoni 13.8 ezeetaagisa okuzimba awajanjabirwa abalwadde ba Kkansa ku ddwaaliro e Nsambya erya St Francis Hospital.

Ssente zitwaliddwa sipiika wa Palamenti Anita Among enkya ya leero.

Ku ddwaaliro, alambuziddwa omulimu gw’okuzimba wegutuuse.

Nga sipiika, asobodde okutongoza emisinde gy’okusonda ssente okufundikira omulimu ogw’okuzimba eddwaaliro egya Rotary Cancer Run 2024, nga 25, August, 2024, egy’omulundi ogwe 13.

Sipiika Among asuubiza nti Palamenti yakweyongera okuwagira entekateeka z’okuzimba awajanjabirwa abalwadde ba Kkansa, okwongera okutaasa bannayuganda abetaaga obujanjabi.

Agamba nti wadde omuddumizi w’amaggye Gen. Muhoozi Kainerugaba, yasuubiza okuwagira entekateeka z’okuzimba, naye olwa kitaawe, ate nga ye mukulembeze w’eggwanga, olw’okuwa Palamenti ssente ez’okugaba, y’emu ku nsonga lwaki, basobodde okuwaayo Biriyoni 1.

Sipiika Among agamba nti okuzimba awajanjabirwa abalwadde ba Kkansa ku ddwaaliro e Nsambya, kyongera okuyamba eggwanga lyonna.

Awanjagidde abasawo ku ddwaaliro e Nsambya okwongera amaanyi mu kumanyisa abantu ebikwata ku bulwadde bwa Kkansa mu ggwanga lyonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=oJxqeAnwQLQ