Tetulina bantu bamwe, Gav’t eyanukudde aba NUP

Famire z’abantu 18 abali mu kunoonya abantu baabwe, abagambibwa nti batwalibwa ebitongole byokwerinda, essuubi lyongedde okubagwamu eryokuzuula abantu baabwe olwa Gavumenti, okulaga nti siyebalina.

Aba famire, baddukira mu kkooti enkulu mu Kampala, mu maaso g’omulamuzi Esta Nambayo, nga basaba kkooti okulagira Gavumenti okuleeta abantu baabwe, ate bwe kiba nga battibwa oba okufiira makkomera, baweebwe ebisigalira byabwe.

Wabula mu kkooti enkya ya leero, Gavumenti eyongedde obujjulizi, obulaga nti abantu abo, abali mu kunoonyezebwa, tebali mikono gyabwe newankubadde bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza.

Amangu ddala omulamuzi Nambayo awadde oludda oluwaabi ennaku 4, okwanukula ku bujulizi bwa Gavumenti era omusango gwongezeddwaayo okutuusa nga 3, May, 2024.

Wabula oluvudde mu kkooti, munnamateeka wa Famire, George Musisi agamba nti Gavumenti yekubye akalipo, nti okutegeeza nti tebali mikono gyabwe, tekitegeeza nti tebaaliko mikono gyabwe.

Munnateeka Musisi agamba nti bwe kiba tebali mikono gyabwe ate nga bakwatibwa ebitongole byokwerinda misana nga bannayuganda balaba, batwalibwa wa?

Mu kkooti, ne ssaabawandiisi wa NUP, David Rubongoya ne Joel Ssenyonyi, omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti babaddeyo.

Ssenyonyi agamba nti teri kutuula okutuusa nga bafunye abantu baabwe.

Ate Rubongoya asabye Minisita Balaam Barugahara Ateenyi okugya omuzannyo mu nsonga z’okunoonya abantu baabwe

Tetulina bantu bamwe, Gav’t eyanukudde aba NUP

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=oJxqeAnwQLQ