Abagisu okuva e Mbale nga begatiddwako ab’e Makindye, bakedde kuzingako omuvubuka Wabomba Musa ali myaka 23, abadde anoonyezebwa okusalibwa embalu.

Musa nga mutuuze we Kitalanga bamukwatidde mu Kibaati era bamutambuza ebitundu eby’enjawulo omuli

– Nsambya

– Kabalagala

– Kansanga, wakati mu kadodi akasombodde abatuuze n’okutaataganya emirimu gyabwe ng’abamu balaba kipya.

Musa asabye akkirizibwe, aweebwe ekiro kimu asuleko ne muganzi we nga tebanamusala wabula ab’ekibinja ekivudde e Mbale, kigaanye okusaba kwe era ategeezeddwa nti bazze kumuyamba afuuke omusajja.

Musa oluvanyuma lw’okumutambuza ebyalo eby’enjawulo atwaliddwa e Kitalanga e Kansanga era esaliddwa embalu wakati mu namunyi w’omuntu.

Abagisu nga bakulembeddwamu Peter Wamanga, bagamba nti bangi ku banaabwe abawangalira mu Kampala, tebannaba kusalibwa mbalu wabula bagenda kunoonyezebwa okutuusa nga bazuuliddwa.

Mu kusala Musa embalu, Wamanga akoze nga omukulu w’ekika era agamba nti emikolo gitambudde bulungi ddala era Musa kati afuuse musajja.

Balangiridde Kampeyini okutambula mu Kampala yonna okutuusa nga bazudde Abagisu bonna, okusalibwa embalu.

Mungeri y’emu balabudde mukozi munaffe Detacha Sakalaman, nti bw’aba tannaba, bagenda kumulumba essaawa yonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-j63Zel1IEg