Omusomesa ku Yunivasite mu ggwanga erya Nigeria, University of Nigeria, Nsukka (UNN) mu ssaza lye Enugu alagiddwa okuddako ebbali okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde.
Kigambibwa omusomesa Mfonobong Udoudom abadde yeegumbulidde omuzze gw’okukabasanya abayizi abawala, olw’okubasuubiza okubawa makisi ez’obwerere.
Omusomesa okuyimirizibwa, kiddiridde akatambi okweyongera okutambula, nga kalaga omusajja ali mu kapale k’omunda nga agezaako okubikka ffeesi, bwe yalumbiddwa abantu mu offiisi ye.
Mu katambi, kiraga nti omusomesa yabadde n’omwana omuwala mu offiisi era yabadde agezaako okumukaka omukwano.

Bwe yasangiddwa mu offiisi, yategeezeddwa nti bazze bamulondoola era balina obujulizi bwonna omuli mesegi za WhatsApp.
Mungeri y’emu bagamba nti kiswaza omusajja omufumbo okudda ku bayizi olw’okuba abasuubiza okubawa makisi.
Embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki Yunivasite eragidde omusomesa waabwe okudda ebbaali okutuusa nga okunoonyereza kuwedde.
Kigambibwa abayizi bangi abaludde nga bali mu kutya olw’omusomesa okusaba omukwano, okusobola okubawa makisi.
Mu Africa, ebikolwa eby’okukabasanya abaana abawala bizze byeyongera ku Yunivasite ez’enjawulo era kigambibwa kivudde nnyo ku mbeera y’okuyamba abaana ne makisi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=oJxqeAnwQLQ