Omulamuzi Kisaakye ayingidde mu byafaayo bya Uganda, alagidde okulonda kwa Museveni kusazibwemu, eggwanga liddemu okulonda.
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo ne banne beekandaze nebagaana okudda mu kkooti nga Omulamuzi Esther Kisaakye awa ensala ye ku by’omusango gwa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ogw’ebyokulonda.
Mu kusooka, Ssaabalamuzi yategeeza nti bonna bakkanyiza ku nsonga zezimu kyokka omulamuzi Kisaakye yabiwakanyiza.
Kisaakye awakanyiza eky’okugaana Kyagulanyi okuleeta obujulizi obuggya mu kkooti wamu n’okumulemesa ennoongosereza mu mpaaba ye.

Omulamuzi Esther Kisaakye
Mu nsale ye, Omulamuzi Kisaakye alagidde okulondebwa kwa Pulezidenti Museveni kusazibwemu, bannansi baddemu okulonda, kubanga okulonda okuwedde kwamenya amateeka.
Kisakye mungeri y’emu abikudde ekyama nti fayiro ye yabuzibwawo Ssabalamuzi Owiny Dollo nga y’emu ku nsonga lwaki alemeddwa okusoma, ensala ye nga bwe yabadde ewandikiddwa wabula asobodde okweyambisa njokesemu eyali esigadde mu offiisi ye.
Mungeri y’emu, kkooti egamba nti Kyagulanyi okuggya omusango mu kkooti gw’ebyokulonda mwe yali awakanyiza obuwanguzi Yoweri Museveni mu kulonda okuwedde, kabonero akalaga nti akakiiko k’ebyokulonda, kalangirira omuntu omutuufu mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021.
Abalamuzi bagamba nti mu kkooti, tewali muntu yenna awakanya buwanguzi bwa Museveni era bamukakasiza nti yawangula obukulembeze bw’eggwanga lino.
Mungeri y’emu kkooti ewadde ensala yaayo ku bya Kyagulanyi okusasula akakiiko k’ebyokulonda, ssaabawolereza wa Gavumenti ssaako ne Pulezidenti Yoweri Museveni oluvanyuma lw’okuggya omusango mu kkooti.
Mu nsalawo ya kkooti esomeddwa omulamuzi Ezekiel Muhanguzi, buli ludda luteekeddwa okwesasulira ssente zebasasaanyiza mu musango nga kikoleddwa, okwanguyiza abantu okuddukira mu kkooti okufuna amazima n’obwenkanya n’okulambikibwa ku nsonga z’amateeka.
Kyagulanyi yaddukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni kyokka oluvanyuma yalagira bannamateeka be nga bakulembeddwamu Medard Lubega Sseggona okuggya omusango mu kkooti.
Kyagulanyi agamba nti kkooti okumulemesa okwongera obujjulizi mu kkooti, okulaga nti ddala Museveni yali tawangudde kulonda, y’emu ku nsonga lwaki yabadde alina okuggyayo omusango.