Bya Nakaayi Rashidah

Munnamateeka Male Mabirizi alangiridde okweyongerayo mu kkooti ya East Africa okuwakanya ekya Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo okweyisa mu ngeri ewebuula ekitongole ekiramuzi.

Mabirizi okutabuka, kidiridde Ssaabalamuzi Owiny-Dollo okugaana okuva musango gwa Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuli mu maaso g’abalamuzi 9 mu kkooti ensukkulumu.

Kyagulanyi yali yaddukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okwaliwo omwezi oguwedde nga 14, Janwali, 2021.

Bobi Wine

Wabula olunnaku olw’eggulo, Kyagulanyi yalagidde bannamateeka be okwanguwa okuggyayo omusango mu kkooti.

Mu kuggyayo omusango, Kyagulanyi yagambye nti kkooti eremereddwa okulaga nti betengeredde mu ntambuza y’emirimu, oluvanyuma lw’okutwala omusango mu kkooti, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, yakasisinkana mukulu Museveni emirundi 3 ate yalemeseddwa, okutwala obujjulizi obuyinza okumuyambako mu kuwangula omusango.

Newankubadde Kyagulanyi ne bannamateeka be bali mu ntekateeka ez’okuggya omusango mu kkooti, munnamateeka Male Mabirizi, naye abadde mu kkooti y’emu ku nsonga y’okusaba Ssaabalamuzi Owiny-Dollo okulangirira nti avudde musango gwa Kyagulanyi.

Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo

Munnamateeka Mabirizi atabukidde Ssaabalamuzi era ezimu ku nsonga zabadde awa mu kkooti, agamba nti mu kulonda kwa 2006, Ssaabalamuzi Owiny-Dollo yali munnamateeka wa Museveni, munna FDC Dr. Kizza Besigye bwe yali aduukidde mu kkooti ensukkulumu okuwakanya ebyali bivudde mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga.

Mungeri y’emu agamba nti Ssaabalamuzi Owiny-Dollo okubaako munnamateeka wa Museveni tasobola kwetengerera ku nsonga ezigenda mu maaso mu kkooti ezimu omuli n’omusango gwa Kyagulanyi era ateekeddewa okudda ebbali.

Wabula Ssaabalamuzi Owiny-Dollo agaanye okuva musango era asuubiza okuwa ensonga ze gye buggya mu maaso.

Munnamateeka Male Mabirizi

Kati no, Munnamateeka Mabirizi agamba nti tebinnaggwa, agenda kweyongerayo mu kkooti ya East Africa, okuwakanya ejjoogo lya Ssaabalamuzi ssaako n’engeri gy’akwatamu emirimu gy’ekitongole ekiramuzi.