Abantu 11 bafiiridde mu muliro ku ssomero e Niger, Poliisi ebiyingiddemu mu bwangu.

Abakungu mu ggwanga erya Niger bagamba nti abantu 11 n’okusingira ddala abayizi battiddwa, bamukwata mmundu we balumbye ebuva njuba bwe ggwanga.

Abatujju batuuse ku kitundu nga bali ku pikipiki era batutte ebintu eby’enjawulo omuli ebisolo, okubba eddagala mu malwaliro ssaako okuteekera omuliro amassomero era kigambibwa bangi ku bayizi bafiiridde mu muliro.

Gavumenti egamba nti guno mulundi gwakubiri ng’abatujju balumba ekyalo ne batta n’okutwala ebintu bukya tuyingira 2021.

Ate ku Ssande, abantu abali mu 140 battibwa, abatujju webalumba amambuka g’eggwanga eryo era bangi ku bannansi bali mu maziga.

Mu ggwanga erya Tanzania, Poliisi ekutte abantu 4 lwa kugegeenya okufa kwa John Pombe Magufuli, abadde omukulembeze w’eggwanga eryo.

John Pombe Magufuli

Abantu 4 abakwattiddwa, bagiddwa ku luguudo lwe Mwanjelwa nga balina ssupu w’ennyama y’embuzzi ne Bbiya nga batekateeka kunywa.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu bitundu bye Mbeya, abakwate, basangiddwa nga batekateeka kujjaguza okufa kwa Magufuli ate nga bannansi bali mu kungubaga.

Poliisi egamba nti abakwate, babadde balina ekigendererwa eky’okutabangula emirembe.

Eggwanga lyategezebwa nti Magufuli afudde nga 17, March, 2021 era okusinzira ku ntekateeka, wakuziikibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano nga 26, March, 2021 mu bitundu bye Chato.

Ate okutya kweyongedde mu ggwanga erya Kenya, olw’abantu abazuulibwa nga balina Covid-19 okweyongera.

Covid-19 mu ggwanga erya Kenya

Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu, olunnaku olwaleero, bazudde abantu 1,463 abalina Covid-19, abantu 498 basiibuddwa mu malwaliro nga bafune obujanjabi ate abantu 26 bafudde olwaleero.

Okuva omwaka oguwedde, Kenya yakazuula abantu 126,170 abalwadde ate yakafiisa abantu 2,092.

Minisitule egamba nti obusenge bwa Intensive Care Unit (ICU) awajjanjabirwa abayi bujjudde ate abantu basukkiridde obulagajjavu, ekivudde obulwadde okweyongera.

Ate Gavumenti mu ggwanga erya South Sudan efunye ddoozi 132,000 eza Oxford-AstraZeneca ez’okugema abantu Covid-19.

Gavumenti esuubira okufuna ddoozi endala 732,000 obutasukka June, 2021.

Okusinzira ku ntekateeka ya Gavumenti, abantu ebitundu 20 ku 100 bebagenda okufuna ddoozi y’eddagala.

Minisitule y’ebyobulamu e South Sudan egamba nti abakozi ab’enkizo omuli abasawo, bebagenda okusooka okufuna eddagala.