Suluhu alonze omumyuka we, bannansi bazzeemu okufuna ku ssanyu.
Omukulembeze w’eggwanga erya Tanzania Samia Suluhu Hassan alonze Minisita w’ebyensimbi Philip Isdor Mpango ng’omumyuka we.
Pulezidenti Suluhu akedde kulangirira Minisita Mpango era amangu ddala ne sipiika wa Palamenti Job Ndugai ayanjudde erinnya lye mu Palamenti y’eggwanga okulikakasa.
Dr Mpango agenda okudda mu bigere bya Pulezidenti Suluhu, eyakutte entebe ng’omukulembeze w’eggwanga eryo okudda mu bigere bya John Magufuli eyafa nga 17, March, 2021.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku Palamenti oluvanyuma lw’okulangirira erinnya lye, Dr Mpango agambye nti musanyufu nnyo era mwetegefu okuwereza mu kifo ekimuwereddwa.
Dr Mpango y’omu ku Baminisita ababiri (2) abaddamu okulondebwa omugenzi Pulezidenti Magufuli bwe yali azzeemu okulondebwa ng’omukulembeze w’eggwanga ekisanja ekyokubiri mweyafiiridde.
Nga tannalondebwa nga Minisita w’ebyensimbi, yali muwabuzi wa Pulezidenti Jakaya Kikwete ku byenfuna.
Kinnajjukirwa nti omwezi guwedde ogwa Febwali, akatambi kasasaana nga Dr Mpango ayogerako eri bannamawulire, okusasira ab’enganda z’abakulu mu Gavumenti abaali bafiiriddwako abantu baabwe olwa Covid-19 kyokka yali mu mbeera mbi nga yenna akolola era kigambibwa yali atawanyizibwa Covid-19.
Ate Pulezidenti w’eggwanga erya Nigeria Muhammadu Buhari azzeeyo mu ggwanga erya Bungereza mu kibuga London okumwekebejja.
Okusinzira ku kiwandiiko ekivudde mu offiisi ya Pulezidenti, Buhari agenze kuddamu kumwekebejja embeera y’obulamu bwe.

Femi Adesina, omwogezi wa Pulezidenti agamba nti Buhari asuubirwa okudda mu ggwanga mu April sabiiti ey’okubiri.
Adesina mu ngeri y’emu agambye nti enkya ya leero, Pulezidenti Buhari asoose kusisinkanako abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe nga tannagenda.
Buhari ku myaka 78 bukya alondebwa nga Pulezidenti we Nigeria, addukidde e London emirundi egiwera okufuna obujanjabi nga ne mu 2017 yaliyo okumala emyezi 3.
Buhari akulembedde Nigeria okuva mu 2015 era yazaalibwa nga 17, December, 1942.
Gavumenti mu ggwanga erya South Sudan eyongezaayo okutandiika okugema abantu Covid-19 kyokka tewadde nsonga yonna lwaki eyongezaayo.

Okugema, kwabadde kulina okutandiika olunnaku olw’eggulo ku Mmande mu kibuga Juba okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu.
Wabula omukungu wa Gavumenti John Romunu agambye nti okugema kwongezeddwayo era asuubiza Gavumenti okuvaayo okuddamu okulangirira olunnaku lw’okutandiika okugema.
South Sudan yafuna ddoozi 132,000 nga 26, March, 2021, mu kiseera kino erina abalwadde 10,119 ate yakafiisa abantu 108.
Okufuna ebisingawo. https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/277440690618599