Abasawo boogedde ekituufu ekyasse Ssaabasumba Lwanga, mu ddakiika 2 ku 5 kiba kimusse.

Kyaddaki abasawo, bafulumizza alipoota ku kyavuddeko abadde Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga okufa.

Ssaabasumba Lwanga yasangiddwa ng’afiiridde mu buliri ku Lwomukaaga ku makya mu makaage e Lubaga.

Wabula okusinzira kw’alipoota efulumiziddwa abasawo nga bakulembeddwamu Dr. Sekitoleko Andrew, Ssaabasumba Lwanga yafa nga kivudde ku mutima okwesiba.

Dr. Sekitoleko agamba nti abasawo bamwekebeze mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ne bazuula nti waliwo, akatole k’omusaayi akazibikira akamu ku busubwa obutambuza omusaayi ku mutima, ekyavaako okufa mu ddakiika 2 ku 5.

Alipoota y’abasawo

Mu kusaba akawungeezi ka leero ku Lutiiko e Lubaga, nga kukulembeddwamu omusumba Paul Ssemogerere ow’e Kasana Luweero, Gavumenti ekiikiriddwa Minisita w’amawulire, tekinologiya n’okulungamya eggwanga Judith Nabakooba era agambye nti Ssaabasumba Lwanga abadde musaale mu kulakulanya abantu, okubangula abantu mu ddiini ssaako n’okukyusa embeera zaabwe.

Minisita Nabakooba agamba nti Gavumenti yakungubaga olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri ku kisaawe e Kololo nga ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ye mukungubazi omukulu.

Ate Bannadiini abeegattira mu kibiina kya Inter Religious Council of Uganda begasse ku bannayuganda okungubaga olw’okufa kwa Ssaabasumba Lwanga.

Bano nga bakulembeddwamu Mufuti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje, bagambye nti Ssaabasumba Lwanga afiiridde mu kaseera ng’eggwanga limwetaaga okunyiga emitima gy’abantu abawanguddwa mu kulonda okuwedde.

Cyprian Kizito Lwanga yazaalibwa nga 19, January, 1953 ku kyalo Kyabakadde mu ggoombolola y’e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono era yafiiridde ku myaka 68.

Yasomerako ku Kyabakadde Primary School ate neyegatta ku Nyenga Seminary mu 1972 ate mu 1974 ku Katigondo National Major Seminary mu disitulikiti y’e Kalungu.

Ate Omuloodi wa Kampala Salongo Erias Lukwago addusiddwa mu ddwaliro ng’ali mu mbeera mbi nga kigambibwa nti alumbiddwa ekirawdde wakati mukusabira Ssaabasumba Lwanga ku lutikko e Lubaga mukama gweyajuludde.

Lukwago abadde atudde mu kifo kya bakungu era amangu ddala ayambiddwako abasajja babiri (2) okumutwala mu ddwaaliro akawungeezi ka leero.

Mu kiseera kino tekimanyiddwa Lukwago alumiddwa bulwadde kika ki nga n’eddwaaliro mwatwaliddwa terimanyiddwa mu kiseera kino.

Ebirala ebifa mu ggwanga kuliko https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1390205114677598