Omukyala atabukidde bba lwa kulemwa kumutuusa ku ntikko lwa waaya ntono, omusajja akigadde mu sitayiro wakati mu maziga.
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Sseguku- Katale ku luguudo lwe Ntebbe e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso, ssemaka bw’asse mukyala we.
Ssemaka ategerekeseeko erya Bbaale akutte effumu nafumitafumita mukyala we Nalusiba Harriet era abatuuze bageenze okutuuka okutaasa, ng’omukyala agudde mu nnyumba mu kitaba ky’omusaayi nga z’embuyaga ezikunta.
Ssemaka Bbaale avudde mu nnyumba okwagala okudduka wabula asanze abatuuze, bajjudde ebweru w’ennyumba era amangu ddala akutte ejjambiya neyesala obulago olw’okutya abatuuze okumugajambula.
Bbaale agudde wansi nga yekutte ku bulago era omusaayi gufuuye okutuusa lw’afudde.
Wabula omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge, agamba nti omusajja abadde akooye omukyala okumulangira nga bw’ali omunafu mu nsonga z’omu kisenge nga n’obusajja busukkiridde oba obutono.
Mungeri y’emu omusajja abadde alumiriza mukyala we okubaliga nti yafuna abasajja abalala, abalina ‘Work’ abayinza okumusanyusa ku nsonga z’okusinda omukwano.
Ate Najjuma omu ku batuuze agamba nti Bbaale ne mukyala we baludde nga balina obutakaanya era omukyala abadde mu ntekateeka okunoba.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza kulaga nti omukyala yakutte omwana namutwala mu kyalo ku pasika nga tewali kukaanya, ekivuddeko okulwanagana n’okwetta.
Owoyesigyire agamba nti emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa nga ne Poliisi bw’enoonyereza ekivuddeko okwetta.
Poliisi ekutte abantu basatu (3) ku misango gy’okutta omukyala Daphne Malemo ali mu gy’obukulu 60 abadde omutuuze ku kyalo Busoba mu ggoombolola y’e Busoba mu disitulikiti y’e Mbale ku misango gy’obutemu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Rogers Taitika, abakwattiddwa agaanye okwatuukiriza amannya gaabwe nga kiyinza okutaataganya okunoonyereza kwabwe n’okuwa omukisa abalala okudduka.
Mungeri y’emu Taitika agambye nti, okunoonyereza kulaga nti omugenzi yatemeddwa ebiso emirundi egiwera bwe yabadde afulumyeko mu nnyumba era omulambo gwe gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.
Abakwate, batwalidde ku kitebe kya Poliisi e Mbale ku misango gy’okutta omuntu era okunoonyereza kugenda mu maaso.
Ebikwata ku mawulire amalala https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/967479103994072
Anti ku ntikko