Omuyimbi Rema Namakula ayongedde okulumya abakyala n’abawala abegwanyiza bba Dr. Hamzah Ssebunya bw’alaze nti omukwano wakati waabwe guli mu ggiya nnene.

Rema agamba nti alina emyaka 29 mbu yazaalibwa nga 24, April, 1991 era kinnajjukirwa nti mu November wa 2019, yayanjula bba Dr. Hamzah mu bazadde be e Nabbingo ku lwe Masaka.

Ng’abakyala abamu, ne Rema yali mu bufumbo ne muyimbi munne Edrisah Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo myaka 31 era yali yakamuzaalira omwana omu yekka.

Rema ku myaka 29

Rema wadde abadde mu bufumbo bwa Dr. Hamzah okuva mu 2019, akyagaanye okumuzaalira omwana wadde waliwo ebigambibwa nti aba famire y’omusajja balemeddeko nga bagamba nti Rema alina okuzaalira mutabani waabwe omwana kuba musajja alina obusoobozi okulabirira omwana we.

Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga vidiyo ng’ali ne bba Dr. Hamzah wakati mu mukwano.

Mungeri y’okulaga abawagizi be nti ali mu laavu ne bba era buli kimu kitambula bulungi wadde waliwo ebigambo by’abantu, ku vidiyo ataddeko omutima okulaga laavu.

Mungeri y’okulumya, asobodde okutambuza kkamera y’essimu, okulaga bba ng’ali naye mu mmotoka kyokka omusajja Dr. Hamzah agaanye okutunula mu kkamera y’essimu.

Kenzo ali ku ki?
Kenzo yali ayagala nnyo Rema era y’emu ku nsonga lwaki yali yamugulira ennyumba e Sseguku ku lwe Ntebe.
Kigambibwa ennyumba yagigula ddoola 170,000 mu za Uganda, obukadde 528, 700,000/-, okusobola okuweesa Rema ekitiibwa.

Mu 2018, omukwano gwa Rema ne Kenzo gweyongera okuyuuga nga kigambibwa Rema yali alumiriza bba Kenzo okwagala abakyala ab’enjawulo omuli ne muyimbi munne Lydia Jazmine.
Rema okulaga nti munyivu, yafulumya ennyimba ez’enjawulo okugezaako okulaga Kenzo nti simusanyufu omuli Sili Muyembe, Linda lwe yayimba ne Chris Evans ssaako n’endala.

Eddy Kenzo mu biseera bye eby’eddembe

Obutakaanya bweyongera era Kenzo kwe kudduka awaka era kigambibwa mu biseera ebyo, Rema yali alina okunoonya omusajja omulala, kwe kufuna Dr. Hamzah.
Abamu ku mikwano gya Rema bagamba Dr. Hamzah yali ayagala Rema ne mu kiseera ng’akyali mu bufumbo bwa Kenzo era y’emu ku nsonga lwaki yamutwala mu bazadde mu bwangu.

Mu kiseera kino Kenzo talina mukyala amanyikiddwa era akyali nakyeyombekedde wadde musajja alina ku ssente.

Okumanya ebirala ebifa mu ggwanga https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/799419384050822