Ssegirinya alajjanye naye omulamuzi agobye okusaba kwe!

Omubaka wa Palamenti owe Kawempe North omulonde, Muhammad Segirinya alajjanye, kabuze kata akulukuse amaziga, omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu, bw’agaanye okumuyimbula okuva mu kkomera.

Omulamuzi Kamasanyu azzeemu okusindika Ssegirinya ku Limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa sabiiti ejja ku Lwokuna nga 15, April, 2021.

Ssegirinya awanjagidde Omulamuzi Kamasanyu okumuyimbula ng’alina okwetekateeka okulayira ng’omubaka wa Palamenti era singa ayimbulwa, wagondera amateeka okudda mu kkooti okwewozaako.

Ng’asinzira mu kkomera e Kitalya ku nkola ya ‘video conferencing’, omulamuzi amujjukiza okwesiga bannamateeka be, ku nsonga ze eziri mu kkooti.

Mungeri y’emu Ssegirinya aloopedde omulamuzi nti bwe yali akwattibwa, nga 23, omwezi oguwedde ogwa March, 2021, abasirikale baamutulugunya.

Agamba yetaaga okufuna obujanjabi ate nga mu kkomera e Kitalya, teri bujanjabi obuyinza okumuyamba.

Omulamuzi okwongezaayo, kivudde ku bannamateeka ba Ssegirinya nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa Kampala omulonde Shamim Malende okulemwa okukaanya n’oludda oluwaabi olubadde lukulembeddwamu Joan Keko.

Mu kkooti, oludda oluwaabi luzze lwetegese nga baleese abantu basatu (3) okutandiika okuwuliriza omusango ate bannamateeka ba Ssegirinya, balemeddeko ng’abagamba nti, omulamuzi alina kuwuliriza kusaba kwe, Ssegirinya okweyimirirwa, ekivuddeko okusika omuguwa.

Bannamateeka ku njuyi zombi balemeddwa okukaanya, ekiwaliriza omulamuzi Kamasanyu okuddamu okusindika Ssegirinya ku Limanda okutuusa nga 15, omwezi guno Ogwokuna.

Malende agamba nti oludda oluwaabi, balemeddwa okubawa ebiwandiiko ebikwata ku bujjulizi obugenda okweyambisibwa mu kuwuliriza omusango era y’emu ku nsonga lwaki balemeddeko.

Ssegirinya yakwattibwa ku Mini Price, mu Kampala bwe yali akulembeddemu banne okwekalakaasa okubanja Gavumenti okuyimbula bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) abazze bakwattibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Vidiyo ya Ssegirinya

Ate emmotoka ya Poliisi esse abantu babiri (2) ate basatu (3) batwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambya nga bali mu mbeera mbi nga kivudde Kabenje mu bitundu bye Nsambya.

Okusinzira ku berabiddeko n’agabwe, ekimotoka kya Poliisi ekinene ekika kya ‘Hino’ namba UP 5638 kigaanye okusiba, ddereeva kwe kuyingirira abantu omuli aba bodaboda, emmotoka ssaako n’abatambuza ebigere.

Emmotoka ezikoneddwa kuliko UAX 851J, UBD 944J, UAS 427S ne bodaboda satu (3) era kigambibwa abafudde babadde basabaze ku bodaboda.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Poliisi y’e Kabalagala atandiise okunoonyereza okuzuula ekivuddeko akabenje n’okulinda alipoota y’abasawo, ku bantu abasatu (3) abatwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa okufuna obujanjabi.

Ebifa mawulire ebirala – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/283171196723762