Ensisi ebuutikidde famire y’omugenzi Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga, bakkondo webalumbye agaali amakaage ku kyalo Kyabakadde mu ggoombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono nga bagenze okubba, mu kiro ekikeseza olwaleero.
Bakkondo nga bakutte ebijjambiya, emiggo, obutayimbwa ku ssaawa nga 7 ez’ekiro, bamenye ne bayingira mu nnyumba nga bali mu ngoye za buligyo ssaako n’okwambala masiki.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, bakkondo babadde wakati wa 10 ne 15 era oluyingidde mu nnyumba, ab’omu nju, basibiddwa akandoya ssaako ne miguwa ne batwala ebintu.
Ebimu ku bintu ebitwaliddwa kuliko amassimu g’omungalo, ssente 250,000 era kigambibwa olw’amazze okubba, omu ku bawala ali mu gy’obukulu 20 yasobezeddwako.
Poliisi ekutte omu ku bantu b’awaka, agambibwa nti yabadde mu lukwe, okuyambako mu kunoonyereza.
Ssaabasumba Lwanga yafudde ku ntandiikwa y’omwezi guno nga kivudde ku mutima okwesiba ku myaka 68 era yaziikiddwa mu Lutiiko e Lubaga.
Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), batandiise olusirika lwabwe, olutwaliddwa e Jinja ku Nile Resort Hotel.
Olusirika lwetabiddwamu abakiise ba Palamenti abalonde mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021.
Kigambibwa ensonga y’okutekateeka ekibiina mu kunoonya ani agenda okulemberamu oludda oluvuganya mu Palamenti y’e 11, y’emu kwezo ezigenda okutesebwako.
Ensonga endala mwe muli, ekibiina okusalawo oba kisimbawo omuntu yenna ku bwa sipiika bwa Palamenti oba okuwagira omu ku bantu 4, abesowoddeyo okuvuganya ku bwa sipiika omuli Rebecca Alitwala Kadaga, omumyuka we Jacob Oulanyah, omubaka we Kira Monicipality Ibrahim Ssemujju Nganda owa Forum for Democratic Change (FDC) ne munna Democratic Party (DP) Robert Ssebamala, omubaka we Bukoto Central omulonde.
Mungeri y’emu bannakibiina abaludde mu Palamenti bagenda kuyambako okulambika ababaka abapya abaalondeddwa ku mirimu gya Palamenti n’okuddamu okuba ttooki ku Manifesto y’ekibiina, gye batambulirako mu kulonda okuwedde.
Kigambibwa, Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine agenda kulambika bannakibiina engeri y’okutambuza obukulembeze mu Palamenti n’okwewala ebiyinza okuswaza ekibiina kyabwe.
Ebirala ebiri mawulire – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3609640219261902