Akabina n’ebitundu by’ekyama bitwaliddwa, naye ddala ki ekiri mu bantu!

Poliisi ekutte abantu basatu (3) ku ttemu eryakoleddwa ku mwana myaka 3 e Kikandwa mu disitulikiti y’e Kiboga.

Omwana Katongole Charles yazuuliddwa ng’attiddwa ekyalese abazadde Ronald Kasibante ne Betty Tulina nga basobeddwa eka ne mu kibira.

Omwana yabula akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande, era Poliisi olwayitiddwa, kwe kuleeta embwa ezikonga olusu.

Embwa, zakulembedde abasirikale okutuusa omwana we bamuttidde, nga nengoye ze, zisuuliddwa zonna zijjudde omusaayi.

Related Stories
GIWUNYE! Ebya Bryan White byonoonese, balagidde akwatibwe ate mu bwangu lwa kuzannyira mu vuvuzera z’abaana

Palamenti ezzeemu okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White akwattibwe ku Read more

Vicious LRA Commander Ogwen Handed 25 yrs In Jail

The International Criminal Court (ICC) at the Hague sentenced the former Lord's Resistance Army- LRA Read more

Oluvanyuma, embwa zaatutte abasirikale eri omutuuze Kintu ku kyalo Ddabiriza era yenna yasangiddwa ng’ajjudde omusaayi.

Omwana yazuuliddwa mu lutobazi lwe Kanoga nga yattiddwa dda era nga asaliddwako ebitundu by’ekyama, amatu n’akabina.

Wabula Racheal Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala agambye nti Poliisi ekutte abantu basatu (3) okuyambako mu kunoonyereza nga n’omusajja Kintu bagenda kumutwala mu ddwaaliro okumwekebejja obwongo n’okuzuula ekyamuwaliriza okutta omwana omuto.

Ate omulambo gw’omwana, gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kiboga okwongera okwekebejjebwa.

Kawala agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu nga Poliisi egenda kukola kyonna ekisoboka abantu bonna abenyigidde mu ttemu, batwalibwe mu mbuga z’amateeka ku misango gy’okutta omuntu.

Gavumenti mu ggwanga erya South Sudan erangiridde nti amassomero gonna omuli n’amatendekero agawaggulu, gakuddamu okuggulawo, okusomesa abayizi b’eggwanga okuva nga 3, omwezi ogujja Ogwokutaano.

Abayizi bakulungudde omwana mulamba nga bali waka wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Abayizi abali mu mwaka ogusembayo, abali mu kibiina eky’omusanvu (P7) ne ‘secondary’, bakkirizibwa dda okudda ku massomero mu October 2020, okubatekateeka okutuula ebigezo byabwe.

Okusinzira kw’amyuka omukulembeze w’eggwanga Cluster Hussein Akol, akakiiko akali ku ddimu ly’okulwanyisa Covid-19, kalaze nti Covid ayongedde okukendera mu ggwanga nga ye ssaawa, bayizi bonna okudda ku massomero.

Ate Minisita w’ebyenjigiriza Awut Deng, agambye nti amasomero galagiddwa okuwa abayizi n’abasomesa sanitayiza, Masiki, okwetangira okulwala nga bazeeyo ku massomero.

South Sudan yakazuula abantu 10,486 abalwadde, yakafiisa abantu 114, 10250 basiibuddwa nga bafunye obujanjabi nga ddwaaliro, basigaza abalwadde 122.