Minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Dennis Hamson Obua abotodde ekyama nti Uganda mu kiseera kino, terina kisaawe, mweyinza kutegekera omupiira gw’ebigere oguli ku ddala ery’ensi yonna, nga byonna ebiriwo mu kiseera kino tebitunkana na mutindo.
Minisita Obua, abadde mu Palamenti akawungeezi ka leero era agambye nti Uganda mu kiseera kino, erinawo ekisaawe kimu kyokka eky’obwannanyini ekya St Mary’s e Kitende ekya Dr. Lawrence Mulindwa era singa ekibiina, ekitwala omupiira mu nsi yonna, kigaana omutindo gwakyo, empaka ez’okusunsulamu abalisamba ogw’ensi yonna e Qatar mu 2022, Uganda yakukyaliza ku mulirwano.
Alipoota ya Minisita Obua ku nsonga y’ebisaawe, enakuwaza abakiise ba Palamenti bonna nga bakulembeddwamu sipiika Rebecca Alitwala Kadaga, eggwanga eddamba okubulwa ekisaawe kyalyo, ekiri ku mutindo gw’ensi yonna.
Kadaga asabye Minisita Obua, okuyamba eggwanga, obutageenda mu nsi ndala, nga kigenda kuswaza eggwanga lino.
Minisita Obua agamba nti Namboole ekiringa ekisaawe ky’eggwanga, bakikwasa Minisitule y’ebyobulamu omwaka oguwedde omwezi Ogwomukaaga wakati mu kulwanyisa Covid-19 n’okujanjaba abalwadde.
Mungeri y’emu agamba nti ne mu kiseera kino Namboole ali mu mbeera mbi.
Mu Palamenti, sipiika Kadaga agambya nti Palamenti eri mu kutekateeka okusiima abadde Kaputeyini wa Uganda Cranes Dennis Masinde Onyango eyanyuse omupiira gwe ggwanga nga 12, omwezi guno Ogwokuna.
Kadaga agamba nti Onyango, asobodde okuwanika Uganda mu kisaawe ky’omupiira, era agwanidde okusimibwa nga Palamenti yakutekateeka olunnaku.
Omubaka wa Mityana Munisipaliti Francis Zaake Butebi agasse edoboozi lye ku ly’abangi, okusaba Gavumenti okuyimbula abawagizi b’ekibiina ki National Unity Platform-NUP abaakwatibwa.
Mu Palamenti, Zzaake yagambye nti bangi ku bawagizi ba NUP abaakwatibwa mum biseera by’akalulu era bali mu makkomera ag’enjawulo ku misango emijweteke era bangi batulugunyiziddwa mu makkomera omuli n’okufuna endwadde.
Guno gwemulundi ogusoose Zaake okwogera mu Palamenti y’eggwanga bukya akubwa emizibu mu Janwali wa 2020, bwe yali agenze e Magere okukyalira Robert Kyagulanyi Ssentamu, eyali asibiddwa mu maka ge oluvanyuma lw’okulonda kwa 14, Janwali, 2021.
Zaake oluvanyuma lw’okukubwa, yatwalibwa mu nsi z’ebweru okufuna obujanjabi era agamba nti bukya akomawo, abadde agezaako okukyalira abasibe kyokka abadde alemesebwa okutuusa lwe yafunye omukisa okukyalira ku basibe abali mu kkomera e Kitalya kyokka bangi bangi bali mu mbeera mbi nga n’omujjuzo mu makkomera gweyongedde.
Wabula Kadaga agamba nti Palamenti efunye abantu ab’enjawulo ku nsonga ezo era agumizza Zaake nga Palamenti bweri mu kunoonyereza ku mbeera eri mu makkomera ga Uganda.
Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440