ssemaka akiguddeko lwa kulemesa mukyala we kwegadanga n’abasajja abalala, Maate ayogedde

Poliisi mu disitulikiti y’e Rukungiri ekutte abantu basatu (3) okuva mu famire emu ku misango gy’okutta ssemaka.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agambye nti  Godfrey Mugisha 58, abadde omutuuze ku kyalo Kahimbi cell mu ggoombolola y’e Bwambara mu disitulikiti y’e Rukungiri yeyattiddwa.

Abakwate kuliko abadde mukyala w’omugenzi Tumushabe Beatrice 50 n’abaana b’omugenzi abalenzi Banturaki Beinomugisha 15 ne Tumwesigye Lawrence.

Maate agamba nti omukyala aludde ng’alina obutakaanya ne bba era kiteeberezebwa nti y’emu ku nsonga eyavuddeko obuzibu, omusajja Mugisha okuttibwa.

Okunoonyereza kulaga nti nga 18, April, 2021, Mugisha yayokya engoye z’omukyala Tumushabe n’okumugoba awaka ng’amulumiza okwagala abasajja abalala ku kyalo.

Mugisha abadde abeera yekka okutuusa nga 23, April, 2021, abatuuze we baatandiise okuwulira ekivundu okuva mu nnyumba, era abatuuze bageenze okumenya oluggi, amaaso gatuukidde ku mulambo.

Poliisi egamba nti omusajja baamunyodde ensingo ne bagikutula, ekyavuddeko okufa kwe.

Omusango guli ku kitebe kya Poliisi e Rukungiri namba CRB765/2021.

Ate ssemaka Emmanuel Ziragora myaka 32 abadde omutuuze ku kyalo Karambi mu ggoombolola y’e Nyarusiza mu disitulikiti y’e Kisoro asangiddwa nga yetugidde mu nju.

Ziragora abadde alina ebizubu era abadde yategeeza dda abatuuze nga bw’agenda okwetta nga ne Poliisi y’e Chahi yategezebwako.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, Ziragora yasangiddwa mu nnyumba nga yeetuze era yetugidde mu kisenge kye nga yeyambisa omuguwa.

Okusinzira ku batuuze, omukyala yali yagenda era Ziragora abadde abeera yekka awaka n’abaana be.

Abaana baakubye omulanga oluvanyuma lw’okusanga kitaabwe nga yetugidde mu kisenge kye.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agambye nti wadde famire ekiriziddwa okuziika, Poliisi etandiise okunoonyereza ekyavudde Ziragora okwetta.

Ate mu bitundu bye Kamwenge, Benjamin Matovu, Kansala wa LC III omulonde afudde.

Matovu abadde mu kasenge akagyanjabirwamu abalwadde abayi (ICU) mu disitulikiti y’e Mbarara okumala sabiiti 3, okutuusa lwe yafudde olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.

Matovu abadde wa National Resistance Movement (NRM) kyokka abadde yalondeddwa nga talina kibiina.

Kigambibwa abadde yafuna akatole k’omusaayi ku bwongo, ekyavuddeko okufa.

Mu kulonda, Matovu yawangula Geoffrey Byamukama abadde Kansala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/244125544132061