Omusajja alemeddwa okwerwanako ng’ali mu kaboozi ne malaaya, ebintu bye bitwaliddwa,Poliisi ebiyingiddemu.

Waliwo omutuuze addukidde ku Poliisi mu Kampala okuyambibwa ku bakyala abasamba ogw’ensimbi, abaatutte ebintu bye nga yakamala okusinda omukwano n’omu ku bakyala eyamuguziza akaboozi.

Omusajja Namasa Rodgers, agamba nti yatwaliddwako ebintu bye omuli ssente enkalu miriyoni 2 ssaako n’amassimu.

Kigambibwa, omusajja yabadde asemberedde okumalayo ssente ze wakati mu kusinda omukwano, abakyala bano abasamba ogw’ensimbi abasukka mu 10 nga bakulembeddwamu kanyama ategerekeseeko erya Brown, bayingidde mu kasenge ne batwala ebintu bye nga n’emikolo gye yabaddeko, egy’okulaga malaaya nti abadde muyagala mu nsonga z’omu kisenge, gyakomye awo.

Wabula Poliisi y’e Nakasero ekutte abakyala 4 ku 10 abali mu kunoonyezebwa ku misango gy’obubbi.

Asp Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti ne Kanyama Brown, eyabayambyeko okutwala ebintu by’omusajja, aliira ku nsiko mu kiseera kino.

Mu ngeri y’emu Poliisi egamba nti abantu, okutambula mu ssaawa za Kafyu y’emu ku nsonga lwaki n’abantu abakyamu, bafuna omukisa okubatusaako obulabe.

Ate e Matugga, Poliisi ekutte abantu 4 ku by’okutta omukyala Jessica Nansubuga myaka 38 abadde omutuuze ku Matugga Mabanda mu Monicipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abakwate kuliko David Kizito, Walusimbi William, Katamba Ken ne Atim Ronald.

Omulambo gulabidddwa abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekyalo John Lubwama nga gusuuliddwa mu kiyumba ekitanaggwa.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa.

Mungeri y’emu agambye nti abakwate bagenda kuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Ate Poliisi mu bitundu bye Rubanda eri mu kunoonya abantu basatu (3) ku by’okutta abantu babiri (2).

Abattiddwa kuliko Bruno Muhangi omutuuze we Mumuyanja cell ne Ivan Byonanebye Kifuba okuva ku kyalo Munkombe cell mu muluka gwe Kibuzigye mu ggoombolola y’e Bubare mu disitulikiti y’e Rubanda.

Battiddwa era emirambo gyabwe gisangiddwa mu nimiro y’omutuuze Joseph Besigye eyali omutuuze we Warugambwa cell.

Kigambibwa Muhangi ne Byonanebye battiddwa ku by’okubba obumonde obuzungu ku kyalo.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agambye nti Poliisi etandiise okunoonya abantu bonna abenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo.