Munnamawulire Faridah Nakazibwe akikoze neera era bangi ku bannayuganda basigadde bakyebuuza ani mutuufu.

Faridah Nakazibwe yali mukozi ku NTV ng’asoma mawulire wabula yavaako era mu kiseera kino akola mirimu gye.

Wadde mukyala muzadde, abadde alina okusoomozebwa mu nsonga z’omukwano era yaliko mu laavu n’omusajja Dr. Omar Ssali eyali awangalira mu kibuga Dubai.

Kigambibwa mbu omusajja yali mufere nga y’emu ku nsonga lwaki Nakazibwe yamusuulawo.

Wabula amawulire galaga nti Nakazibwe azadde omwana omulala.

Amawulire galaga nti azadde mwana mulenzi era azaalidde mu nsi z’ebweru.

Mu kiseera kino, kizibu okutegeera omusajja omutuufu taata w’omwana wabula okunoonyereza kutandikiddewo, okutegeera omusajja omutuufu.

Mu Uganda, Nakazibwe y’omu ku bawala abaliko abekuumidde ku mutindo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=xPjaAEtSUH4