Omuwala Sheilah Gashumba kati y’omu ku bawala abali mu katale k’abanoonya mu kiseera kino.
Wiiki ewedde, Sheilah yafulumizza ekiwandiiko, okutegeeza ensi yonna nti mu kiseera kino talina musajja.
Ekiwandiiko, kyabadde kigendereddwamu okutegeeza ensi nti ebya laavu wakati we ne Rickman Manrick biweddewo.


Wakati mu kunoonya ani ayinza okudda mu bigere bya Manrick okugikuba obulungi, waliwo vidiyo eri mu kutambula nga Sheilah ali n’omuvubuka Brian Ahumuza amanyikiddwa nga Abryanz.
Mu vidiyo, Abryanz yalaze nti alina okufaayo okwenjawulo eri mwana muwala era bangi ku bantu kwekusigala nga bebuuza ekiriwo wakati waabwe.


Mu kiseera kino, tewali alina bukakafu obulaga nti Sheilah ali mu laavu ne Abryanz wadde vidiyo eraga nti waliwo enkolagana ey’enjawulo.
Sheilah agamba nti alina emyaka 28 era wadde akoze ebintu eby’enjawulo okunoonya ssente, okusigala mu mawulire n’okwekuumira ku mutindo, tannafuna ssanyu mu bintu bya mukwano, abasajja abafuna naye ne bagenda.

VIDIYO

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RTyoKFNEVI4