Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu kitongole kya Poliisi.
Pulezidenti Museveni alonze Abbas Byakagaba, nga Ssaabaddumizi wa Poliisi mu ggwanga.
AIGP Byakagaba abadde yawumula emirimu gya Poliisi, alondeddwa okudda mu bigere bya Martin Okoth Ochola, eyawumula gye buvuddeko.
Mungeri y’emu Pulezidenti alonze AIGP James Ochaya okumyuka Byakagaba ku bwa Ssaabaddumizi bwa Poliisi.
AIGP Ochaya alondeddwa okudda mu bigere bya Maj Gen Geoffrey Katsigazi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=gI3Nsq4lfjU