Omuvubuka Ibrahim Musana amanyikiddwa nga Pressure Pressure 24 /7, ayimbuddwa enkya ya leero, kakalu ka kkooti ka Miriyoni 2 ez’obuliwo.

Pressure Pressure yakwatibwa nga 17, February, 2024 ku misango gy’okweyambisa emitimbagano omuli Tiktok okuvoola Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Pulezidenti Museveni, sipiika wa Palamenti Anita Among ssaako n’abakulembeze abalala, wakati wa August, 2023 ne February, 2024 mu Kampala.

Mu kkooti enkya ya leero, mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi, bannamateeka ba Pressure Pressure okuli Mbasaba Raphael Gideon ne Tumusiime Kakuru, newankubadde babadde baleese abantu abalala nga bonna bakyala, okweyimirira omuntu waabwe, nate omulamuzi amuyimbudde.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, babadde basabye omulamuzi akadde okwekeneenya ebikwata ku bakyala abaleeteddwa wabula Omulamuzi agambye nti Pressure Pressure bukya asindikibwa ku limanda, amazzeeyo ennaku eziri 60.

Omulamuzi, ayimbudde Pressure Pressure, ng’oludda oluwaabi, bwe lufundikira okunoonyereza.

Asabiddwa ssente miriyoni 2 ez’obuliwo ate abamweyimiridde obukadde 20 buli omu ezitali za buliwo.

Pressure Pressure 24 wadde ayimbuddwa, alagiddwa obutaddamu kwongera ku mannya ga Kabaka, omukulembeze w’eggwanga, Sipiika wa Palamenti Anita era singa addamu, wakuddamu akwatibwe.

Mungeri y’emu alagiddwa okuwaayo Ndaga Muntu ne Passipooti mu kkooti mu wiiki emu yokka.

Alagiddwa okudda mu kkooti nga 28, May, 2024.

Ebirala ebifa mu ggwanga Uganda – https://www.youtube.com/watch?v=tj6lJZTnYuY