Abasuubuzi 2 bataasiddwa okuttibwa abatuuze ku kyalo Jakana mu ggoombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bwe basangiddwa n’ebintu ebibbe.

Abasuubuzi bano okuli Kakooza Godfrey ne Ssemakula Ssempijja bebakwatiddwa era okwekebejja amaka gaabwe, musangiddwamu ebintu eby’enjawulo omuli

– Amassimu agali 30

– Bulooka nga ziteekeddwa mu buveera obwabulaaka zebakuba abantu mu kubba.

Abakwate basangiddwa ne Pikipiki namba UDA 923N ekika kya Honda, gye baludde nga bakozesa mu ntambula zaabwe nga bagenze okubba.

Mu kwewozaako, bagamba nti basuubuzi bamassimu nga ne mu Kampala, batunda massimu.

Okukwatibwa, kigambibwa babbye Ipad ku Northern Bypass  nga bali ku Pikipiki, nannyini Ipad yasobodde okukolagana n’ebitongole byokwerinda omuli Poliisi okulondoola Ipad okutuusa okukwatibwa.

Wabula Kakooza ne Ssempijja balemeddeko, bagamba nti tebalina musango gwonna.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Ssalongo Ssekiriwo Francis, Ssentebe w’ekyalo ne Ssekito Matia, akulira eby’okwerinda ku kyalo balabudde abatuuze ku nsonga y’abatuuze abali ku kyalo kyabwe, abatamanyiddwa.

Abatuuze bagamba nti Kakooza ne Ssempijja baludde ku kyalo emyaka 2 kyokka nga balowooza nti basuubuzi mu Kampala.

Abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Buwambo, okwongera okunoonyereza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=1ZIWIjcFYj4