Poliisi mu Kampala egudde mu kabinja k’abazigu, abaludde nga benyigira mu kutigomya bannakampala nga tebaliiko budde, essaawa yonna bayinza okweyingira mu kubba.

Akabinja katambulira mu ggaali, nga balina Pikipiki zebeyambisa okudduka mu kifo.

Mu kubba, beyambisa ejjambiya, obutayimbwa, ebyambe nga bateega abantu mu kkubo ekiro, emisana ne ku makya nga bagenda ku mirimu.
Batwala ebintu omuli amassimu, ssente, ensawo z’abakyala n’ebintu ebirala.

Mu kikwekweeto, bitaala bya Chez wali ku Sir Apollo Kaggwa Road mu Kampala ku ssaawa 12 n’ekitundu ez’okumakya wiiki ewedde ku Lwokutaano nga 29, March, 2024, 2 ku babbi, baakubiddwa amasasi Poliisi y’e Wandegeya.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, wadde 2 battiddwa, akabinja mwe muli abaalumba omukyala mu katambi akali mu kutambula ku mikutu migatta abantu wali ku Purblic Service mu Kampala, eyakubwa tteke mu maaso ne batwala ensawo n’essimu ng’omukyala ali ku ttaka aboyaana.

Enanga agamba nti ku battiddwa mwe muli Ssekyanzi Vincent abadde amanyikiddwa nga Taata Toopi myaka 28 ne munne (tamanyikiddwa bimukwatako) nga bonna bafiiridde mu ddwaaliro e Mulago.

Okunoonyereza kulaga nti baludde nga benyigira mu kubba abantu mu bitundu bye Nasakero, public service-Katanga, Sir Apollo Kaggwa road, Chez traffic lights n’ebitundu ebirala mu Kampala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=3RlTPVnyMCg