BAMBI! Minisita akubye ba ‘Slay Queen’ omuggo

Gavumenti eyongezza ssente okudda ku mitwalo 30 eri bannayuganda, abagufudde omuze okukyusakyusa Ndaga muntu zaabwe.

Gavumenti, eraga nti abantu begumbulidde okukyusa

– Ennaku z’amazaalibwa

– Emyaka

– Amannya gaabwe

Gavumenti ebadde esaba ssente emitwalo 5 okukyusa ekintu kyonna ku ndaga muntu wabula mu lukiiko lwa Kabinenti, bakaanyiza, okulinyisa ssente, okudda ku mitwalo 30.

Mungeri y’emu Gavumenti egyeewo ssente

Emitwalo 5 eri abantu abagenda okufuna Ndaga muntu empya

– Emitwalo 4 eri abantu abatuuka ekikeerezi okwewandiisa.

Okusinzira ku Minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi,  ssente zongezeddwa okudda ku mitwalo 30, okugyawo egy’abantu okulagajjala nga bagenze okwewandiisa.

Entekateeka z’okuddamu okuwandiisa bannayuganda okufuna ndaga muntu empya, zakutandiika nga 1, June, 2024.

Minisita Baryomunsi  agamba nti Ndaga Muntu, zigenda kuyambako ne mu kulonda kwa 2026.

Kigambibwa mu Uganda, abakyala babadde bakwata kisooka mu kwagala okukyusa ebikwata ku Ndaga muntu zaabwe n’okusingira ddala emyaka.

Abakyala n’okusingira ddala ba ‘Slay Queen’ begumbulidde okusala emyaka, nga y’emu ku nsonga lwaki omuwendo gwabwe gweyongedde.

Abalala abali mu kikolwa ky’okukyusa emyaka, bannabitone n’okusingira ddala abasambi b’omupiira mu kirabu ez’enjawulo mu Uganda.

Basala emyaka, okusobola okulaga nti bakyali bato, okusobola okufuna amangu emirimu mu nsi z’ebweru mu kirabu endala.

Oluvanyuma lwa Gavumenti okulinyisa ssente, omuwendo gwa ba ‘Slay Queen’ ogwagala okukyusa ebikwata ku Ndaga muntu zabwe gugenda kwongera okwesala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RTyoKFNEVI4