Laba engeri bassentebe gye balemesezza Pressure 247 okuva mu kkomera.

Omuvubuka Ibrahim Musana amanyikiddwa nga Pressure Pressure 24 /7, awungidde mu kkooti, ng’omuwaabi wa Gavumenti Richard Birivumbuka bw’abadde asoma ebyavudde mu kwekeenya ebiwandiiko by’abantu beyaleeta, okumutaasa ekkomera.

Musana yakwatibwa nga 17, February, 2024 ku misango gy’okweyambisa emitimbano omuli Tiktok okuvoola Ssaabasajja Kabaka wa Buganda , Pulezidenti Museveni, sipiika wa Palamenti Anita Among ssaako n’abakulembeze abalala, wakati wa August, 2023 ne February, 2024 mu Kampala.

Mu kkooti enkya ya leero, Birivumbuka agamba nti abantu 2 beyaleeta okumweyimirira ne Musana yennyini, tebalina kifo kyankalakkalira, webayinza kusangibwa.

Mu kkooti, aleese ebbaluwa eziraga nti abantu be, tebamanyiddwa ku byalo, byabategeeza kkooti.

Nga munnamateeka ku ludda oluwaabi, Birivumbuka asabye kkooti nti bw’eba yakuyimbula Musana, alina okuwa kkooti obukadde 30 ez’obuliwo ssaako n’okuleeta ekyapa ky’ettaka mu mannya ge.

Amangu ddala, omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Ronald Kayizzi, agobye okusaba kwa Musana okweyimirirwa era aziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 26, March, 2024.

Wabula munnamateeka wa Musana, Kakuru Tumusiime agamba nti, bagenda kuddukira mu kkooti enkulu, okusabira omuntu we, okweyimirirwa.

Kakuru, agamba nti kiswaza bassentebe ku byalo okuwandiika ebbaluwa ezikakasa abantu baabwe ate oluvanyuma ne baddamu okuwandiika ebbaluwa endala, eziraga nti tebamanyiddwa ku byalo.

Kakuru agamba nti ekyo kyongera okulaga nti eggwanga lyolekedde akaseera akazibu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FZP34F_zwlU