Omuwala wa Yunivasite abadde akyangakyanga abasajja okufuna ssente akiguddeko.
Omuwala ali mu myaka 24, nga y’omu ku bayizi ku Yunivasite z’omu Kampala era kigambibwa asoma byabulimi.
Amannya ategerekeseeko erya Angella era kigambibwa abadde asukkiridde okuleeta abasajja ab’enjawulo mu kazigo kye.
Angella, alina akazigo mu bitundu bye Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.
Kigambibwa abadde alina abasajja abakola ku bintu eby’enjawulo omuli okufuna eky’okulya, okwambala, ssente okwebezaawo ng’omwana omuwala n’ebintu ebirala.
Afunye buzibu ki?
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, kigambibwa yakomyewo awaka ng’ali n’omuvubuka ali mu myaka 28 era kigambibwa muganzi we.
Wabula ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, waliwo omusajja ategerekeseeko erya Mike eyazze okukyalira Angella nga naye kigambibwa muganzi we.
Mike okusanga omusajja omulala mu nnyumba, yavudde mu mbeera era amangu ddala yatabukidde Angella okuleeta omusajja mu nnyumba ate nga buli mwezi abadde alina okumusaba ssente z’okusasula ennyumba.
Ekyo, kyavuddeko embeera okusajjuka, Mike okulumba omusajja okulwana kyokka Angella yabadde agezaako okumulemesa okulumba muganzi we, Mike yakubye Angella ekikonde, ekyamusudde mu bintu.
Wadde omulenzi yasobodde okufuna omukisa okudduka, Angella yasigadde ali mu maziga kuba yagudde ku ttiivi, okwasa endabirwa z’ennyumba ssaako n’ebintu by’omu nju.
Ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, Mike yavuddewo kyokka Angella yasigadde asobeddwa.
Baneyiba babotodde ebyama
Wadde Angella yasigadde asobeddwa, baneyiba bagamba nti abadde asukkiridde okuleeta abasajja mu nnyumba.
Abamu bagamba nti aleeta abasajja abavubuka n’abakadde era mu kusooka bali balowooza nti malaaya, anoonya eky’okulya.
Taata Sam, omu ku batuuze ku kyalo agamba nti mu kitundu kyabwe mulimu abawala bangi okuva ku Yunivasite ez’enjawulo wabula asabye abaana abawala okukomya okulowooza nti balina kufuna basajja okwetusaako ebintu.
Agamba ekyo, kivuddeko abawala abato okulwala obulwadde omuli okufuna mukenenya n’abamu okuttibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=xPjaAEtSUH4&t=18s