Poliisi y’e Mityana ewezeza omuwendo gw’abantu 8 abali mu kkomera ku by’okwagala okutta omukyala.

Okunoonyereza kulaga nti akatambi, akaludde nga katambula ku mikutu migatta bantu, ekikolwa kyakolebwa nga 28, Ogwokuna, 2024 ku ssaawa nga 9:30 ez’okumakya.

Ekikolwa kyali ku kyalo Namuzikiza mu ggoombolola y’e Kikandwa mu disitulikiti y’e Mityana.

Omukyala ali mu katambi ye Muhirwe Kolodina myaka 29, nga mutuuze we Kikandwa e Mityana.

Kalondina yali mukyala wa James Lukiiko, kyoka yafuna obutakaanya ne bawukana mu January, 2024 oluvanyuma lw’okumala ebbanga lya myaka 6 nga bali bombi kyokka yalemwa okufuna olubuto okugyako okutula amasuuka ge.

Bamwokya nga waliwo abamulumiriza okubba embizzi ate abamu nga bagamba yabba enkoko.

Mu kikwekweeto, Poliisi yakakwata abantu omuli

Kiwanuka Steven – Ssentebe w’ekyalo (bamukubira mu makaage)

– Ssendege Sunday – (amyuka ssentebe w’ekyalo)

– Lukiiko James – Eyali bba w’omukyala

– Kezimbira George

– Lwabye Brain – Mutabani wa Lukiiko

– Namusoke Betty – Eyaleeta omuguwa

– Kalanzi Jimmy – Akulira eby’okwerinda ku kyalo, eyaleeta ekibiriiti n’ekidomola.

Poliisi egamba nti wadde omukyala yasiiibuddwa okuva mu ddwaaliro ekkulu e Namayumba, naye alina emisango.

Poliisi egamba nti abatuuze okwenyigira mu kikolwa omuli ne ssentebe w’ekyalo, kabonero akalaga nti n’omukyala tabadde mutuuze mulungi.

Fred Enanga, agamba nti balina omusango ng’omukyala yeenyigira mu kubba amatooke e Busunju era naye essaawa yonna, bamutwala mu kkooti ng’abadde anoonyezebwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=1ZIWIjcFYj4